Waliwo omusajja akubyekubye mukyala we bw’amusangiriza nga waliwo omusajja omusiisi wa Chapati amusitudde ssaako n’okuweweeta ebisambi.
Namuwonge Allen ali myaka 25 nga mutuuze we Kataba e Kabalagala mu divizoni y’e Makindye, yakubiddwa bba Ronald Bashir.
Omu ku batuuze Nakityo Amina nga mutuunzi w’akaboozi, agamba nti omusajja yasobodde okweyambisa Solido y’amasanyalaze, okutimpula mukyala we.
Nakityo agamba nti Namuwonge, yabadde atudde ku bisambi bya Musa omusiisi wa Chapati, ng’aliko eby’okunywa, bye yabadde amugulidde.
Mungeri y’emu agamba nti omusajja yamuyise, okubaako ensonga zebatesaako, wabula yamukubye Solido ku mutwe, emikono, amagulu, omugongo era mu kiseera kino anyiga biwundu.
Omusasi waffe Nareeba Steven, bw’abadde awayamuko n’abatuuze, bagamba nti Bashir asukkiridde ebubba, ng’alowooza nti mukyala we, ayinza okufuna omusajja omulala amusinga ensumika mu nsonga z’omu kisenge.
Omukyala Namuwonge agamba nti wadde bba Bashir amusonyiye obutamusiba, amusuddewo era mu kiseera kino azzeeyo ku muddaala gw’abanoonya, okunoonya omusajja ayinza okudda mu bigere bye.
Mungeri y’emu agambye nti yetaaga omusajja, Katonda gwe yawa ekitone, mu nsonga z’okwesa empiki okusinga Bashir abadde akankana nga yekwasa embeera y’obudde.
Ate Poliisi ekutte abantu basatu (3) ku misango gy’okutta omuntu mu disitulikiti y’e Bukomansimbi.
Okusinzira ku Poliisi, Paul Kibirige myaka 23 yasangiddwa ng’ali mu kaboozi mu nsiko n’omuwala, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, era mbu yakubiddwa, famire y’omuwala.
Kibirige yabadde agenze ku mikolo gy’okwanjula ewa ssentebe w’ekyalo Kyetume -Katoma mu ggoombolola y’e Kibinge, Musanje Sserwadda, omukwano ne gweyongera ng’ali ku mbaga ne bayingira mu nsiko n’omuwala okwesa empiki.
Wakati mu kusinza omuwala nti Katonda yamuwa nga n’omuwala asuddemu obuyimba obutambuza omuzannyo, Kibirige yasangiddwa ne bamukuba era omulambo gusangiddwa enkya ya leero, nga gusuuliddwa emanju wa ssentebe.
Olw’okutya, ssentebe Sserwadda akubye enduulu esombodde abatuuze era amangu ddala ne Poliisi eyitiddwa.
Webuzibidde nga Poliisi e Bukomansimbi ekutte abantu basatu (3) ku misango gy’okutta Kibirige eyabadde amatiza omuwala nti ye kafulu mu nsonga z’okusinda omukwano.
Muhammad Nsubuga, omwogezi wa Poliisi mu bendebendo lye Masaka agamba nti omuwala eyabadde agabidde Kibirige ebyalo etegerekeseeko nga Viola.
Abakwate, baguddwako emisango gy’obutemu era Poliisi evumiridde eky’okutwalira amateeka mu ngalo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=68hu6ZZAlOI