Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja seduvuto ku misango gy’okusobya ku mwana ali mu gy’obukulu 13 ali mu kibiina eky’okutaano (P5) ku St. Joseph Lwebitakuli primary school mu disitulikiti y’e Sembabule.
Richard Ntale, omusirikale wa UPDF mu ggye ezibizi ku Poliisi y’e Lwebitakuli yakwattiddwa.
Omwana wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti omusajja Ntale yamusobyako ku kyalo Mpumudde mu ggoombolola y’e Lwebitakuli, kati gigenda mwezi 5 era yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna.
Omwana agamba nti olw’okutya, okuttibwa yasirika okutuusa omu ku basomesa be, weyekengedde embeera ye nga buli kaseera abeera mulwadde.
Omukulu w’essomero, yalagidde omwana okumwekebejja ne bazuula nti yafuna olubuto lwa myezi etaano (5) era amangu ddala, omwana yalomboze embeera yonna eyamutuukako wakati mu kutya nti Ntale, ayinza okumutta.
Omukulu w’essomero yasobodde okutemya ku Poliisi ssaako n’abazadde era amangu ddala Ntale yakwattiddwa.
Taata w’omwana Augustine Lutalo, agamba nti Ntale yasobya ku mwana we mu kiseera n’gali wa jjajjaawe wakati mu kulwanyisa Covid-19 ng’abaana bali waka.
Ku Poliisi, Ntale akkiriza eby’okusobya ku mwana kwe kusaba okusonyiyibwa ng’asuubiza okulabirira omwana okutuusa lwalizaala ssaako n’omwana ng’azaaliddwa wabula famire y’omwana bakisimbidde ekkuuli.
Wabula Muhammad Nsubuga, omwogezi wa Poliisi mu bendobendo lye Masaka agamba Ntale ali mikono gyabwe era essaawa yonna, bamutwala mu kkooti.
Ate entiisa ebuutikidde abatuuze b’e Kanyogoga mu zzooni y’e Kawanda e Nabweru mu disitulikiti y’e Wakiso, mutuuze munaabwe bw’agiridde mu nnyumba mu kiro, ekikeeseza olwaleero.
Omugenzi y’e Nanfuka Gertrude myaka 90 era abatuuze webatuukidde okuzikiza omuliro, ng’omulambo gwonna gufuuse bisiriiza.
Mu nnyumba, Nanfuka abadde asula n’omuzukkulu ali mu gy’obukulu 12 kyokka ekirungi ye, asobodde okusimatuka.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Poliisi y’e Kawempe, etandiise okunoonyereza ku mbeera eyo kuba kiteeberezebwa nti waliwo, eyakumye omuliro nga n’omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.
Ate abatuuze abamu wakati mu kulukusa amaziga, bawanjagidde ekitongole kya Poliisi okunoonyereza okuzuula ekituufu, ekivudde omuntu waabwe okufa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=euG6feAR2aA