Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja Rwaheru Patrick myaka 28 ku misango gy’okutta mukyala we Nasazi Dorothy abadde mu gy’obukulu 34.

Rwaheru nga mutuuze ku kyalo Nkondo mu ggoombolola y’e Gayaza mu disitulikiti y’e Kyankwanzi yakwattiddwa.

Okusinzira ku Poliisi, omusajja Rwaheru ne mukyala we baludde nga balina obutakaanya ng’omusajja alumiriza mukyala we obwenzi.

Omusajja agamba nti mukyala we, abadde yafuna abasajja abalala, abamukusa mu nsonga z’okusinda omukwano nga buli kiro, amukuba omugongo ssaako n’okwambala akapale akamulipa mu ngeri y’okumulemesa okubaako kyakola.

Ate omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza amannya ge, agambye nti obutakaanya, bwavaako n’omukyala okusenguka mu kisenge okudda mu ddiiro, okulemesa bba okuddamu okwesa empiki.

Wabula omusajja olw’obusungu, nga 28, omwezi oguwedde Ogwokubiri ekiro, yayongera okulangira mukyala we obwenzi, ekyavaako okulwanagana.

Omusajja yakuba mukyala we Nasazi emiggo ssaako ne nkumbi eyamukwata, mu lubuto era amangu ddala yafiirawo.

Okuva olwo, abadde aliira ku nsiko okutuusa lwakwatiddwa.

Racheal Kawala, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala, Kyankwanzi mweri, agamba nti Rwaheru aguddwako emisango gy’okutta omuntu era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Ate Poliisi ekutte omusajja ku misango gy’okutimpula mutabani we emiggo, myaka 5 lwa Chapati ya shs 500 zokka.

Moses Muwanguzi, nga mutuuze ku kyalo Solo mu ggoombolola y’e Busia mu disitulikiti y’e Busia yakwattiddwa.

Muwanguzi yaguze Chapati ya shs 500, muganzi we omuggya gyayinza okunywera ku ccaayi, wabula yagenze okuyingira mu nnyumba nga mutabani we Chapati agiridde.

Ng’omusajja ali mu laavu okusanyusa muganzi we, yavudde mu mbeera era amangu ddala, yakubyekubye mutabani we emiggo.

Omwana wakati mu kubba enduulu, abatuuze webatuukidde okutaasa ng’omukono gumaze okumenyeka nga yenna afunye ebiwundu ku mutwe, amagulu, emikono n’omugongo.

Lydia Nabwire omu ku batuuze ate nga neyiba, agamba nti Muwanguzi yasobodde okweyambisa embooko, okutimpula mutabani we emiggo.

Wabula Juma Paul Ouma akola ku nsonga z’abaana ku Poliisi y’e Busia, bw’abadde awayamu ne 100.2 Galaxy FM, agambye nti omwana yakubiddwa nnyo era Muwanguzi essaawa yonna bamutwala mu kkooti nga n’omwana atwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Q1iFUhUW2oU