Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ku kyavuddeko omuyizi ku Yunivasite e Kyambogo okwetta.
Omuyizi Brian Wetaka ng’abadde mutuuze we Ntinda, eyali omuyizi wa Science in Chemical Engineering ku Yunivasite e Kyambogo nga yafuna diguli mu 2019, yesse mu ngeri erese abayizi n’abasomesa nga bali mu ntiisa.
Wetaka yesse olunnaku olw’eggulo ku ssaawa 2 ez’okumakya ku Yunivasite y’e Kyambogo.
ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi yafunye amawulire ga Wetaka okwetta okuva ku Asikaali wa Yunivasite we Kyambogo.
Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekebejjebwa.
Owoyesigyire agamba nti mu kwekebejja ekifo, Poliisi yazudde ekiwandiiko ekyawandikiddwa omugenzi era yagambye nti, “nsazeewo okwetta olwa situleesi asukkiridde”.
Owoyesigyire agamba nti wadde Poliisi ezudde ekiwandiiko, okunoonyereza okuzuula ekituufu kutandikiddewo ku Poliisi y’e Kyambogo.
Wetaka okwetta, asobodde okweyambisa ekizimbe ky’abayizi abasoma Engineering.
Ate kyaddaki Poliisi ekutte ssemaka Rwaheru Patrick myaka 28 ku misango gy’okutta mukyala we Nasazi Dorothy abadde mu gy’obukulu 34.
Rwaheru nga mutuuze ku kyalo Nkondo mu ggoombolola y’e Gayaza mu disitulikiti y’e Kyankwanzi yakwattiddwa.
Okusinzira ku Poliisi, Rwaheru ne mukyala we baludde nga balina obutakaanya ng’omusajja alumiriza mukyala we obwenzi.
Omusajja agamba nti mukyala we, abadde yafuna abasajja abalala, abamukusa mu nsonga z’okusinda omukwano nga buli kiro, amukuba omugongo ssaako n’okwambala akapale akamulipa mu ngeri y’okumulemesa okubaako kyakola.
Ate omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza amannya ge, agambye nti obutakaanya, bwavaako n’omukyala okusenguka mu kisenge okudda mu ddiiro, okulemesa bba okuddamu okwesa empiki.
Wabula omusajja olw’obusungu, nga 28, omwezi oguwedde Ogwokubiri ekiro, yayongera okulangira mukyala we obwenzi, ekyavaako okulwanagana.
Omusajja yakuba mukyala we Nasazi emiggo ssaako ne nkumbi eyamukwata, mu lubuto era amangu ddala yafiirawo.
Okuva olwo, abadde aliira ku nsiko okutuusa lwakwatiddwa.
Racheal Kawala, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala, Kyankwanzi mweri, agamba nti Rwaheru aguddwako emisango gy’okutta omuntu era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Ate abatuuze bagamba nti Rwaheru balina kumuwanika ku kalaba ku by’okutta omukyala.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=q15xROjICQk