Poliisi evuddeyo ku bayimbi, abegumbulidde okutabangula ebivvulu, ekivuddeko abadigize okwenyigira mu kulwana.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abayimbi begumbulidde okwambala enkunamyo, obugoye bu kokoonyo ne balaga maapu y’ebitundu by’ekyama ne kisika abadigize okusembera okumpi ne siteegi.

Sheebah Kalungi ne Jose Chameleone ku siteegi

Enanga agamba nti embeera eyo, eyongedde okweyoleka n’ekivaako ekivvulu okukyankalana, kwe kulabula abayimbi okukikomya kuba kiyinza n’okutambuza obulwadde bwa Covid-19.

Mungeri y’emu alabudde n’abayimbi, abegumbulidde okwekasuka mu badigize wakati mu kuyimba nga bali ku siteegi nti abakikola, ye ssaawa okukikomya.

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru agamba nti kati ye ssaawa Poliisi okwongera amaanyi ku bayimbi, abegumbulidde okukyankalanya ebivvulu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Mungeri y’emu alabudde abategesi b’ebivvulu nti balina okutegeeza ku Poliisi kuba ebyokwerinda byetaagisa okuyambako mu kutangira abatujju.

Ku nsonga y’okwambala enkunamyo, abamu ku bannayuganda bagamba nti ‘List’ kuliko abayimbi omuli Sheebah Kalungi, Cindy, Karole Kasita, Kapa Cat n’abalala.

Eddoboozi lya Enanga

Ate omukulembeze w’eggwanga erya Ukraine Volodymyr Zelensky ayongedde okuwanjagira ensi, okuvaayo okutaasa naye bannansi bangi bayinza okuttibwa.

Zelensky myaka 44 nga yali musajja munnakatemba, yakwata obuyinza okulembera eggwanga eryo nga 20, Ogwokusatu, 2019 era ye mukulembeze owomukaaga okulembera Ukraine.

Zelensky asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okulaga nti Russia eyongedde okulaga obukambwe ssaako n’okuyingiza ebyokulwanyisa, okusanyawo ensi yaabwe.

Mungeri y’emu agambye nti Russia, yakoze obulumbaganyi ku tterekero ly’ebyokulwanyisa bya ‘nuclear’, ekiyinza okusanyawo ensi yonna.

Zelensky alemeddeko nti Russia yakikoze ekigenderedde, okulumba enfo za ‘nuclear’, kwe kusaba abakulembeze mu nsi ez’enjawulo obutalinda, wabula okuvaayo okutaasa.

Mu kiseera kino Ukraine eyongedde okuwa emmundu abantu babuligyo ssaako n’okuyimbula abasibe, okuyambako mu kulwanyisa Russia.

Kigambibwa, abantu abasukka mu 1,000,000 bamaze okudduka mu ggwanga erya Ukraine, okunoonya ensi, gye bayinza okufunira emirembe.

Ukraine erimu abantu abali mu 40,000,000 wabula emmundu eyongedde okuseka.

Ate ekibinja ekisooka eky’abannansi ba Nigeria batuuse mu kibuga Abuja okuva mu ggwanga erya Ukraine okutaasa obulamu.

Abasoose okutuuka bonna bayizi, okusinzira ku Yusuf Buba, ssentebe w’akakiiko ak’ensonga z’ebweru w’eggwanga.

Okusinzira ku bakulu mu Nigeria, basuubira okutaasa bannansi baabwe abasukka 5,000.

Kigambibwa abamu baasobodde okudduka ne bayingira eggwanga erya Romania, Poland ne Hungary gye bagenda okugibwa, okubaza awaka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=HAmCVgEfRA8