Omusajja owa bodaboda ali mu myaka 34 awonye emiggo gy’abatuuze, bw’asangiddwa ng’ali mu kaboozi ne muk’omusajja.

Owa bodaboda ono, ategerekeseeko erya Sekamate bamukutte lubuna ng’ali mu kusinda mukwano n’omuwala ategerekeseeko erya Teopista, mukyala wa Ivan.

Sekamate musajja avuga bodaboda mu bitundu bye Kawempe era Ivan abadde amukozesa okutwala ebintu awaka nga takimanyi nako nti ali mu laavu ne mukyala we.

Ivan musajja musuubuzi w’amatooke mu katale e Nakasero mu Kampala era mutuuze Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Olunnaku olw’eggulo akawungeezi ku ssaawa nga 12 , Ivan yawadde Sekamate ebintu okubitwala awaka omuli omugaati, sukaali, enkota y’ettooke, ennyama n’ebirala.

Ivan agamba nti Sekamate abadde mukwano gwe nnyo abadde ye musajja yekka gwe yeesiga owa bodaboda okutwala ebintu awaka.

Wabula Ivan yabadde alina okulaba omupiira gwa Liverpool ne West Ham United kuba musajja muwagizi wa Liverpool.

Ivan agamba nti yabadde mulwadde omutwe, ng’alina okudda awaka okuwumula n’okuwuliriza omupiira ku laadiyo ate mukyala we yabadde tamusuubira kudda waka kuba Liverpool yabadde egenda kusamba.

Ku ssaawa 2 ez’ekiro, Ivan yabadde atuuse awaka kyokka yatuuse nga mukyala we tamulabako.

Ivan ne Teopista tebalina mwana yenna mu kiseera kino era awaka abeerawo ne mukyala we.

Bwe yatuuse mu ddiiro ng’omukyala taliwo, yagenze mu kisenge era amaaso gatuukidde ku mukyala we ng’ali mu kaboozi ne Sekamate.

Ivan agamba nti yatuuse mu kisenge ng’omukyala ali mu bigambo nti “awo daddy, otuuse, fukirira yonna nkuwadde, nga bwe kuba mpya tukku”.

Amangu ddala okulwanagana wakati wa Ivan ne Sekamate kwatandikiddewo nga Ivan bw’akuba enduulu wabula abatuuze webatuukidde okutaasa nga Sekamate amaze okudduka.

Ate omukyala wakati mu maziga, yasabye bba Ivan okumusonyiwa nga yekokkola sitaani okumukema.

Wabula Ivan wakati mu maziga, yagobye Teopista mu nnyumba oluvanyuma lw’okumukuba.

Agamba nti wadde Teopista abadde amwagala nnyo, tayinza kuba na mukyala mwenzi.

Ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, Teopista yalabiddwako ng’afuluma ggeeti okweyongerayo wakati mu batuuze okusaakaanya nti ‘obwenzi, obwenzi, obwenzi’.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=q15xROjICQk