Abayizi 344 bali mu ssanyu mu kiseera kino oluvanyuma lw’okufundikira emisomo gyabwe ku Clarke International University ne bafuna diguli, Dipulooma ne satifikeeti ku mikolo gya matikkira ag’e 12.
Ku mikolo egyabadde e Bukasa – Muyenga, Clarke International University era yabadde ejjakuza okuweza emyaka 14 bukya etandikibwawo era eyali ssenkulu wa Vision Group Robert Kabushenga yeyabadde omugenyi omukulu ku Lwomukaaga nga 5, March, 2022. Omukolo era gwetabiddwako Dr. Ian Clarke nannyini kutandikawo Clarke International University ne Chansala Dr. D Zac Niringiye.

Ku mukolo, Emmanuel Taban yawangudde eky’omuyizi eyasiinze okukola obulungi ku Dipulooma mu Clinical Medicine ate Anthony Mambo Alex eky’omuyizi eyasiinze banne mu kunoonyereza olwa Pulojekiti gye yakolera mu South Sudan.
Okusinzira ku Dr. Rose Nanyonga Clarke amyuka Chansala ku Clarke International University, emikolo gy’amatikkira, kabonero akalaga amaanyi n’obumu mu kuwereza eggwanga. Dr. Nanyonga agamba nti wadde abayizi , batataganyiziddwa Covid-19, olwa maanyi ga Katonda, basobodde okufundikira emisomo gyabwe.

Mungeri y’emu yasabye abayizi, okuba abayiiya okweyambisa amagezi okuva ku Clarke International University okukyusa eggwanga n’okwenyigira mu kulwanyisa ebbula ly’emirimu.
Dr. Nanyonga agamba nti wadde abayizi bafundikidde emisomo gyabwe, balina okweyambisa amagezi gebafunye, okwongera okutunda University mu Uganda n’ensi yonna.
Ate Omugenyi omukulu Robert Kabushenga bwe yabadde ayogerako eri abayizi, yagambye nti kati ye ssaawa okukola ebintu ebiyinza okuyamba famire zaabwe ssaako n’eggwanga lyonna.
Mungeri y’emu yasabye abayizi okweyambisa sitoole ya Ian Clarke okubayamba mu kutambuza emirimu gyabwe.

Kabushenga era yawadde abayizi amagezi okuyambagana mu bulamu nga kigenda kubayamba nnyo mu kwekulakulanya ate n’okuba abaguminkiriza ku buli nsonga yonna.
Ku matikkira, omukyala Masika Immaculate yakoze bulungi nnyo era yeyasinze banne mu Medical Education mu Dipulooma ate Ayebare Flannan yeyasinze banne mu Public Health era yafunye diguli.

Mungeri y’emu Dr. John Charles Okira yagudde mu bintu oluvanyuma lw’okulaga nti ddala musajja wanjawulo nnyo ate omusajja omukozi.
Kyalangiriddwa nti kati Dr. John Charles Okira , Polofeesa mu Manegimenti, ekintu ekiraga nti kati University eyongedde okufuna abakugu mu kutambuza emirimu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Q1iFUhUW2oU&t=166s