Ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa abazigu b’emmundu ekya Flying Squad Unit kikutte abantu 13 abagambibwa okutambulira ku Pikipiki ne benyigira mu kubba abantu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, aba Flying Squad Unit nga bakulembeddwamu Senior Superintendent of Police –SSP Andrew Kaggwa, basookedde kwekebejja vidiyo zonna eza Closed Circuit Television (CCTV) eziraga ababbi ku nguudo ez’enjawulo mu Kampala nga batambulira ku Pikipiki.

Enanga agamba nti ababbi batambulira mu kirindi nga bali ku Pikipiki era banoonya nnyo abantu abatambula nga balina ensawo eziraga nti balina Kompyuta ekika kya Laptop oba okulaga nti batwala ssente.

Fred Enanga

Abamu ku bakwate kuliko Abdullahman Bakata amanyikiddwa nga  Pancho, Gordon Ssegirinya, Mugerwa Abdul, Wanada Augustine, Nsubuga Emmanuel, Mukasa Michael, Muwada UIvan, Bukenya Joseph, Tomusange Derrick, Sonko Ashraf, Muhammad Kintu ne Nsubuga Hood.

Alipoota za Poliisi ziraga nti Pancho y’omu ku babbi abaludde nga batigomya abantu mu Kampala era wadde akwattiddwa enfunda ez’enjawulo ne bamutwala mu kkooti, babbi banne bakola kyonna ekisoboka okumugyayo.

Pancho y’omu ku bantu abaakola obulumbaganyi ku mulamuzi Gladys Kamasanyu mu Gwomunaana, 2021 bwe yali agenda ku ssomero lya  Green Hill Academy e Namuwongo ku ssaawa 5 ez’okumakya.

Omulamuzi Kamasanyu yakosebwa mu bulumbaganyi obwo ne bamutwala mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo okufuna obujanjabi wabula ensawo omwali ebintu bye omuli amassimu, ebiwandiiko byonna byatwalibwa.

Poliisi era egamba nti Pancho yali omu ku bba abenyigira mu kubba Dawit Kasa, omukungu ku kitebe kya Ethiopia mu Kampala nga 25, omwezi oguwedde Ogwokubiri 2020.

Nga bali Pikipiki ezisukka mu 10 n’ababbi abasukka 10, batwala ensawo ya Kasa.

Mu sitetimenti ku Poliisi, Kasa agamba nti mu nsawo ye mwalimu amassimu agali mu ssente 2,800,000 ssaako ne Laptop.

Enanga agamba nti wadde 13 bali mu mikono gya Poliisi, okunoonya banaabwe bonna bakwatibwa, kukyagenda mu maaso.

Mungeri y’emu agambye nti waliwo ne Pikipiki zebalina ezigambibwa okweyambisibwa mu kubba era Poliisi etandiise okuzekeneenya.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=yJ0vCWgrUFY