Poliisi y’e Kalisizo ekutte omuntu omu ku misango gy’abakyala okulwanira omusajja nga buli omu amwesunga n’okwewaana nti ye musufu mu nsonga z’okusinda omukwano.
Okusinzira ku batuuze, ku Lwomukaaga ekiro, ku kifo ekiriko Loogi ne bbaala ekimanyiddwa nga Kadena e Kalisizo mu Tawuni Kanso y’e Kalisizo mu disitulikiti y’e Kyotera, omuwala ali mu gy’obukulu 17 Maureen Kyasimire yasimatusse okuttibwa.
Abatuuze abaali mu bbaala, bagamba nti Kyasimire ng’ali ne mukozi munne, waliwo omusajja eyabatabula nga buli omu amukayanira era bonna baali bambadde obugoye obumpi.
Wabula waliwo omukozi omulala eyazze nayingira mu lutalo nga yabadde akutte ekintu, ekisongovu, kye yatuunze Kyasimire ku mutwe ne bamuddusa mu ddwaaliro e Kalisizo ng’ali mu mbeera mbi.
Mu kiseera kino Poliisi y’e Kalisizo eyingidde mu nsonga era omuntu akwattiddwa, okuyambako mu kunoonyereza.
Ate Dr. Emmanuel Ssekyeru agamba nti wadde Kyasimire ali mu kasenge k’abayi, bakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu.
Kigambibwa ku Kadena, obw’amalaaya bweyongedde omuli n’abawala ku myaka emito okuva ku 15 ate abasajja begumbulidde okuganza abawala abato.