Ekiyongobero kibuutikidde abayizi n’abasomesa ku ssomero lya St. Joseph Senior Secondary School e Nakanyonyi – Bugembe mu divizoni y’e Jinja north mu kibuga kye Jinja, omuyizi wa S1 (esooka) bw’afiiridde muliro.
Omuliro, gusanyizaawo ekimu ku kizimbe omusula abayizi abalenzi era Emmanuel Muwumba, abadde mu gy’obukulu 14, omuliro gumusse.
Ebintu bya bukadde bisanyiziddwawo ate abayizi 8 batwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja nga bazirise olw’okufiira ebintu byabwe.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, James Mubi, Muwumba okuddayo munda okukima engoye ez’okwambala, omuliro gwamuzingiza era bwatyo teyasimatuse.
Poliisi egamba nti okunoonyereza kulaga nti omuliro gwavudde ku masanyalaze era gwatandiise ku ssaawa ng’emu ey’akawungeezi (7:00PM), mu kiseera mu kisulo mulimu abayizi 4 bokka.
Omu ku bayizi agaanye okwatuukiriza amannya ge, agambye nti omujjuzo gusukkiridde mu kisulo nga kiba kizibu omuyizi yenna okudduka singa wabaawo obuzibu.
Wabula Mubi agamba nti wadde Poliisi yakoze omulimu gwaayo okuzikiza omuliro, okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko omuliro, kutandikiddewo.