Poliisi ekutte omusomesa wa Pulayimale ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Geoffrey Kirungi, omusomesa ku Bugwara Primary school yakwattiddwa ku by’okusobya ku mwana ali mu gy’obukulu 15, omuyizi mu kibiina eky’omusanvu (P7) ku Devine Nursery and primary school mu ggoombolola y’e Kabasekende.

Omusomesa Kirungi nga naye mutuuze ku kyalo Kabasekende, atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Kibaale ku misango gy’okusobya ku mwana omuto ssaako n’okumutikka olubuto.

Okusinzira kw’addumira Poliisi y’e Kibaale Esther Tumusiime Adeke, essaawa yonna omusomesa bamutwala mu kkooti, oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Mungeri y’emu Moses Byaruhanga Korondi, akulira abasomesa ku Kiduma Parents Nursery and Primary school mu ggoombolola y’e  Kiryanga mu disitulikiti y’e Kagadi aliira ku nsiko ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 14.

Omwana eyasobezeddwako abadde mu P4 era muyizi ku Kiduma Parents Nursery and Primary school.

Byaruhanga ye Kansala w’omuluka gwe Kiduma mu ggoombolola y’e Kiryanga.

Ate abamu ku bakyala abasamba ogw’ensimbi (Malaaya), bagamba nti okunyigirizibwa n’okunoonya eky’okulya, y’emu ku nsonga lwaki balemedde mu kwetunda.

Abakyala bano, bagamba nti okunoonya emirimu nga tegirabika, balemedde mu kulenga omukwano, okufuna ensimbi, okusobola okutambuza obulamu.

Enkya ya leero, omusasi waffe Nareeba Steven bw’abadde awayamu n’omu ku bakyala abaludde mu kusamba ogw’ensimbi, agamba nti okuzaala ku myaka emito nga tewali buyambi, yasalawo okwetunda, okunoonya ensimbi, okutambuza obulamu ssaako n’okuliisa omwana we.

Omukyala ono agaanye okwatuukiriza amannya ge nga mutuuze ku Salaama Road agambye nti abasajja bakasitoma, abafuna wakati ssente 3,000 kun 10,000 ng’olunnaku, ayinza okufuna abasajja abasukka 10.

Mungeri y’emu agambye nti abasajja bakasitoma bali wakati w’emyaka 30 kwa 40 bamusaanga ku mudaala gwe e Makindye kyokka abasinga obwavu nga balina 3,000 bebasinga amaanyi mu nsonga z’okusinda omukwano ssaako n’okusaba enyongeza wamu n’okulemerako nga baagala okubawola.

Agamba nti olw’okunoonya ssente, ayinza okugenda mu kikolwa n’omusajja yenna ng’ali mu maziga wabula ng’alina okukigumira kuba yengeri yokka  ey’okufuna ssente.

Malaaya ono era agamba nti bangi ku mikwano gye bafunye akawuka ka siriimu okuva mu kwetunda era bangi bali ku ddagala kyokka balemeddeko mu kwetunda olw’okunoonya ssente.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=zal4T7UOwMs