Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) Muhammad Ssegirinya omubaka we Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West, baziddwa ku limanda mu kkomera e Kigo, okutuusa nga 23, omwezi guno Ogwokusatu, 2022.
Enkya ya leero, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka Christine Nantege kyokka oludda oluwaabi, basobodde okutegeeza kkooti, nti bakyanoonyereza.
Nga basinzira ku nkola eya ‘zoom’ okuva ku limanda mu kkomera e Kigo, bonna baziddwa ku limanda okutuusa nga 23, omwezi guno.
Ssegirinya ne Ssewanyana bakulungudde ku limanda emyezi egisukka mukaaga (6) ku misango egiwerako omuli egy’obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju n’emirala wabula baziddwa ku limanda ku misango gy’okutta Joseph Bwanika.
Bwanika eyali omutuuze we Kisekka B mu disitulikiti y’e Lwengo, yattibwa nga 2, Ogwomunaana, 2021, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021.
Ku mulundi guno, maama wa Ssegirinya Christine Sanyu Nakajumba ne mukyala we Twahilah Akandinda bakedde mu kkooti e Masaka, era bonna bakulukusizza amaziga amangu ddala nga Abasibe Ssegirinya ne Ssewanyana balabiseeko mu kkooti nga bayita ku zoom.
Maama Nakajumba azzeemu okusaba abakulu mu Gavumenti omuli n’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyamba okuyimbula mutabani we, nga yetaaga okufuna obujanjabi.
Ate mukyala wa Ssegirinya Akandinda alabiddwako nga kiraga nti awunze olw’endabika ya bba.
Ssegirinya abadde alaga nti mugonvu nnyo nga mu ffeesi, atandiise okuzimba, ekyongedde okuyungura famire ye amaziga.
Kinnajjukirwa nti omwezi oguwedde, omukyala wa Ssegirinya Akandinda, kabiite wa Ssewanyana Lydia Namatta nga begatiddwako nnyina wa Ssegirinya Nakajumba, baddukira mu offiisi ya myuka sipiika wa Palamenti Anita Among okuyambibwa.
Sipiika Among yabasuubiza okuyingira mu nsonga zaabwe, okwongera okusaba ekitongole ekiramuzi okwanguyiriza okuwulira emisango gy’abantu baabwe era buli omu, yaweebwa obukadde bwa ssente 5,000,000, okubayambako mu kutambuza obulamu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=JdciOoeLqXg