Muk’omusajja ali mu gy’obukulu 30 aswadde bw’akwatiddwa ng’ali mu kaboozi n’omulenzi wa bodaboda enkya ya leero.

Omukyala ategerekeseeko erya Sarah yasangiddwa ng’ali mu kusinda omukwano ne Juma, omu ku balenzi, abavuga bodaboda mu bitundu bye Matugga.

Sarah mukyala mufumbo ng’alina abaana babiri (2) kyokka bba musajja wa safaali ng’ayinza okumala emyezi esatu (3) nga takomyewo waka.

Enkya ya leero ku ssaawa nga 4, omu ku batuuze awulidde omukyala akuba enduulu ng’ali mu kaboozi nti ‘Yesu, Yesu” mu nju ya Juma era ye ne banne bafunye ekirowoozo nti Juma ayinza okuba aliko omukyala gw’atusaako obulabe.

Abatuuze bekozeemu omulimu okuyingira mu kazigo ka Juma era amaaso gatuukidde ku Sarah ne Juma nga bali ku kaboozi.

Muk’omusajja Sarah mu kwewozaako agambye nti abadde akooye ate nga Juma alemeddeko era y’emu ku nsonga lwaki abadde aleekanira waggulu ennyo.

Asabye abatuuze okumusonyiwa kuba mukyala mufumbo nga bba obutabaawo, y’emu ku nsonga lwaki yenyigidde mu kikolwa ky’obwenzi.

Muk’omusajja Sarah asonyiyiddwa abatuuze nga ne Juma alabuddwa okwesonyiwa Bakabasajja kuba ayinza okuttibwa.

Juma wadde avuga bodaboda mu bitundu bye Matugga, mutuuze we Kazo – Lugoba mu Kawempe.

Ate Poliisi, ekutte abantu 4 ku misango gy’okutta Ivan Mukisa, abadde omusuubuzi owamaanyi mu disitulikiti y’e Bugiri.

Abakwate, Poliisi egaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, nga kiyinza okutaataganya okunoonyereza era bonna batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Bugiri.

Mukisa kati omugenzi abadde mu gy’obukulu 32, abadde musuubuzi wa Mizindaalo ssaako n’ebyamasanyalaze era yattiddwa ku Lwokubiri ekiro.

Okusinzira ku batuuze, abatemu bamuteeze mu kkuubo, bwe yabadde addayo awaka ku kyalo Katawo mu Monicipaali y’e Bugiri ne bamutta.

Omulambo gwazuuliddwa, nga gujjudde ebiwundu ku mutwe, obulago, omugongo ne kifuba wakati mu kitaba ky’omusaayi.

Kigambibwa bamusse ne batwala ssente ezitamanyiddwako muwendo.

Wabula Steven Lwembawo, nga yakulira okunoonyereza ku misango mu disitulikiti y’e Bugiri, agamba nti Poliisi ekutteko abavubuka 4 era waliwo abaliira ku nsiko abakyanoonyezebwa.

Lwembawo asuubiza okunoonyereza okuzuula ekituufu lwaki Mukisa yattiddwa.

Ate Ephraim Musobya, omu ku batuuze, agamba nti mu kitundu kyabwe, abavubuka begumbulidde okunywa enjaga, ekivuddeko ebikolobero okweyongera.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TXpHxHVNjFQ