Waliwo omukyala omutuuze we Nsambya mu Kampala ali maziga, olwa bba okumuyiira ebijanjalo okuva ku ssigiri olw’obutakaanya wakati waabwe.

Ebijanjalo byamutte mugongo gwonna okutuukira ddala wansi ku butuuliro nga mu kiseera kino tasobola wadde okutuula.

Omukyala ono ye Namwebese Ester ali mu gy’obukulu 35 era wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti wadde baludde nga balina obutakaanya, abadde tasuubira nti bba ayinza okumuyiira ebijanjalo by’amazzi agookya.

Namwebese agamba nti ye ne bba balina abaana bataano (5) abadde naye emyaka egisukka 15.

Agamba nti baludde nga bafuna obutakaanya ng’abafumbo, ng’omusajja amusaba ekisonyiwo ne baddamu okwagalana.

Namwebese afumba mmere mu kitundu ekyo (woteeri) okumpi n’awaka kyokka ye ne bba, baludde nga balina obutakaanya n’okulwanagana.

Obuzibu bwavudde kuki?

Namwebese agamba nti bba yamulagidde okutwala abaana mu ddwaaliro wabula yamusabye okumuyambako atwale abaana kuba yabadde aliko byakola ng’alina okufumba emmere.

Agamba nti omusajja yavudde mu mbeera era amangu ddala yamulumbye kwe kumusamba omugere.

Namwebese agamba nti yabadde amanyi omusajja agenze wabula yakutte ebijanjalo kwe kumuyiira omugongo gwonna.

Mu kiseera kino yatutte omusango ku Poliisi y’e Kabalagala.

Agamba nti omusajja aliira ku nsiko mu kiseera kino, kwe kusaba Poliisi okuyamba anoonyezebwe.

Lwaki omusajja yavudde mu mbeera!

Namwebese agamba nti omusajja abadde agamba nti abaana bonna abataano (5) si yabazaala era abadde ayongedde okutambuza ebigambo ku kyalo kyonna.

Agamba nti ye si mukyala mwenzi nga yewunya lwaki bba agamba nti abaana si yabazaala.

Ssentebe ayogedde!

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo, Mbabali Badru, Namwebese ne bba baludde nga balina obutakaanya.

Ssentebe Mbabali agamba nti kiswaza omusajja omukulu okwenyigira mu kutwalira amateeka mu ngalo.

Mbabali awanjagidde abatuuze, okwewala okutwalira amateeka mu ngalo wabula okweyambisa abakulembeze ku byalo singa bafuna obutakaanya bwonna wakati waabwe.

Vidiyo!

 

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hqhVABt_woc