Maama wa Muhammad Ssegirinya omubaka we Kawempe North, Christine Sanyu Nakajumba, alangiridde nga bw’agenda okwetta olw’emisango egyaggulwa ku mutabani we.

Nakajumba agamba nti akooye, okulaba mutabani we Ssegirinya ng’ali mu kubonabona mu kkomera gy’ali nga ye ssaawa okwetta, okusinga okulaba embeera gy’alimu.

Maama agamba nti ye mukyala mulwadde kyokka olwa mutabani we okusibwa, yekyaaye era essaawa yonna agenda kwewa obutwa, yette.

Okubyogera, kivudde ku  mulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka Christine Nantege, okuzza ku Limanda Ssegirinya ssaako ne Allan Ssewanyana omubaka we Makindye West okutuusa nga 23, omwezi guno Ogwokusatu, 2022 nga kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, okutegeeeza nti betaaga obudde, okutekateeka ebiwandiiko byabwe okusindikibwa mu kkooti enkulu okwewozaako.

 

Nga basinzira ku nkola eya ‘zoom’ okuva ku limanda mu kkomera e Kigo, bonna, balagiddwa mu kkomera okutuusa  23, omwezi guno, Ogwokusatu, 2022.

Ssegirinya ne Ssewanyana bakulungudde ku limanda emyezi egisukka mukaaga (6) ku misango egiwerako omuli egy’obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju n’emirala wabula baziddwa ku limanda ku misango gy’okutta Joseph Bwanika.

Bwanika eyali omutuuze we Kisekka B mu disitulikiti y’e Lwengo, yattibwa nga 2, Ogwomunaana, 2021, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021.

Oluvudde mu kkooti, munnamateeka waabwe era omubaka omukyala owa Kampala Malende Shamim, agamba nti balina esuubi nti nga 23, omwezi guno, Ssegirinya ne Ssewanyana balina okubasindika mu kkooti enkulu okutandiika okwewozaako.

Kinnajjukirwa nti omwezi oguwedde, omukyala wa Ssegirinya Twahilah Akandinda, kabiite wa Ssewanyana Lydia Namatta  nga begatiddwako nnyina wa Ssegirinya Nakajumba, baddukira mu offiisi ya myuka sipiika wa Palamenti Anita Among okuyambibwa.

Sipiika Among yabasuubiza okuyingira mu nsonga zaabwe, okwongera okusaba ekitongole ekiramuzi okwanguyiriza okuwulira emisango gy’abantu baabwe era buli omu, yaweebwa obukadde bwa ssente 5,000,000, okubayambako mu kutambuza obulamu.

Ebira ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=_msh6HY6onY