Kyaddaki Poliisi y’e Kanyanya ekutte omusajja Julius Matovu myaka 32 omutuuze mu kibuga e Fortportal ku misango gy’okukuba mukyala we olw’obutakaanya wakati waabwe.
Omusajja Matovu yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku misango gy’okukuba omukyala Esther Nasaka myaka 22, omutuuze mu zzooni y’e Kikubbamba mu disitulikiti y’e Wakiso.
Kigambibwa nga 10, Ogwomusatu, 2022, omusajja Matovu yakubidde mukyala we Nasaka essimu okuggya okukima engoye ze ku Kyebando Erisa mu maaso ga Homesdalen Primary and Nursery School.
Matovu ne Nasaka baafuna obutakkaanya, ekyavaako omusajja okukuba omukyala.

Okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu omuli Face Book, WhatsApp n’emirala, Matovu yakubye Nasaka ebikonde, okumusamba ssaako n’okumuzika enviiri ng’omukyala ali mu maziga.
ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Matovu essaawa yonna bagenda kumutwala mu kkooti, oluvanyuma lw’okunoonyereza.
Owoyesigyire agamba nti Poliisi efunye vidiyo era bagenda kugyeyambisa ng’obujjulizi nga batuuse mu kkooti.

Omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza amannya ge, agambye nti Matovu n’omukyala baludde nga balina obutakaanya ng’omusajja agamba nti mukyala Nasaka asukkiridde obwenzi.
Ate omukyala omulala ategerekeseeko erya Maama Angle agamba nti Matovu musajja bwenzi nnyo nga yakoze nsobi okukuba omukyala.
Mungeri y’emu agamba nti bwe kiba ng’omukyala mwenzi, yabadde alina eddembe okumugoba mu maka, okusinga okudda ku mukyala okumukuba.
Abatuuze abalala bagamba nti Matovu alina okuba ekyokulabirako ku basajja abalowooza nti omukyala balina kumukuba.
Poliisi mu bitundu bye Busoga North eri mu kunoonya omusajja Ronald Ibanda myaka 45, omutuuze ku kyalo Bugaya mu disitulikiti y’e Buyende ku misango gy’okutta mukyala we.
Ibanda yasobodde okweyambisa ekintu ekitamanyiddwa okufumita mukyala we Elizabeth Ndekeye emirundi 2 mu lubuto ku Lwokutaano ekiro era mu kiseera kino aliira ku nsiko.
Omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza amannya ge agambye nti Ibanda yamukubidde essimu nti agenze ne mukyala we Ndekeye mu tawuni y’e Iganga okukyalira ku famire ye.
Amos Kakuti, nga naye mutuuze agambye nti Ibanda ne mukyala we Ndekeye baludde nga balina obutakaanya.
Michael Kasadha, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North agamba nti Ibanda n’omukyala baludde nga beyambisa offiisi y’amaka ku Poliisi yaabwe okuyambibwa kuba baludde nga balina okusika omuguwa.
Kasadha agamba nti mu kiseera kino wadde Ibanda aliira ku nsiko, Poliisi etandiise okumunoonya ku misango gy’okutta omuntu.
Ate entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Namulesa mu kibuga kye Jinja, omuvubuka Absalom Waiswa myaka 24 bwe yesse oluvanyuma lw’okutta omwana we Simon Ibanda myaka mukaaga (6).
Waiswa yasobodde okuwanika omutabani ku muti okumutta oluvanyuma naye ne yetta.
Kigambibwa omukyala we okugenda, y’emu ku nsonga lwaki yesse ne mutabani we.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Ob5QXm-XxFU