Ekiri mu Ukraine!
Gavumenti mu ggwanga erya Japan, erangiridde okwongera okuteeka envumbo ku by’obugagga bya bannansi ba Russia 17.
Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa Minisitule y’ebyensimbi, Russia okwongera okulumba Ukraine, y’emu ku nsonga lwaki, bavuddeyo okuteeka envumbo ku by’obugagga bya bannansi ba Russia.
Singa bakiteeka mu nkola, omuwendo gw’abannansi ba Russia abakoseddwa n’envumbo gwakulinya okutuuka ku 61.
Ate mu ddwaaniro mu ggwanga erya Ukraine, enkya ya leero ku ssaawa nga 12 ez’okumakya, Kalina 2 omusula abantu babuligyo zikubiddwa mu kibuga Kyiv.
Kalina ezikubiddwa kuliko emyaliiro egisukka mu 7 wabula agavaayo, galaga nti omuntu omu yekka yakoseddwa era atwaliddwa mu ddwaaliro.

Kigambibwa, bangi ku bannansi abaali basula mu kalina ezo, badduka dda, olw’okutya nti essaawa yonna Bakomando ba Russia, bayinza okubasuulako ebikompola.
Wadde emmundu ekyaseke mu ggwanga erya Ukraine, America egamba nti efunye amawulire nga China bweri mu nteseganya ne Russia, okugiyambako okugiwa ebyokulwanyisa ne ssente, okubayambako mu kutambuza olutalo.
Wabula omu ku bayambi b’omukulembeze wa America Joe Biden alabudde China, obutagezaako wadde okweyingiza mu nsonga z’olutalo nga bayita mu kuyamba Russia.
Kigambibwa Russia yasabye China okugiyambako mu by’okulya omuli emmere y’amaggye etayononeka.

Ate kyo ekibiina ky’amawanga amagate ekikola ku nsonga za babudabuda, kiraga nti bannansi ba Ukraine, abasukka mu bukadde kati 3 bamaze okudduka mu Ukraine mu bbanga lya wiiki 2 zokka bukya Russia, ebakolako obulumbaganyi.
Okusinzira ku Lipoota gye balina, bangi ku bannansi bakyali ku nsalo okudduka olw’okutya nti Rassia eyinza okwongera, okubalumba n’okutta bannansi.
Alipoota eraga nti abantu 1,600,000 bali mu ggwanga erya Poland, 245,000 mu ggwanga erya Hungary, 195,000 bali mu ggwanga erya Slovakia, 173,000 bali mu Romania.
Bannansi abalala baddukidde mu ggwanga erya Germany, Austria, Estonia, Greece, Ireland, Italy, Portugal, Sweden, Budaaki n’amalala.
Ate mu ggwanga erya Sudan, okwekalakaasa kweyongedde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga bannansi bawakanya ebbeeyi y’omugaati n’amafuta okweyongera okulinnya.
Ebitongole ebikuuma ddembe, byongedde okunyweza ebyokwerinda nga waliwo n’ebitundu ebimu ttiyaggaasi akubiddwa.
Okusinzira ku bannansi, ebbeeyi y’omugaati erinnye ebitundu 40 ku 100.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ICfyZbtXDQ0