Omusajja ali mu gy’obukulu 27 awonye emiggo gy’abatuuze oluvanyuma lw’okusinda omukwano ne Malaaya nga talina ssente.
Enkya ya leero, malaaya avudde mu kasenge n’omusajja ng’asaba mikwano gye okuyambibwa olw’omusajja okumukozesa enfunda eziwerako ekiro kyonna nga yabadde amusuubiza ssente shs 20,000 era omusajja abadde mu maziga nga malaaya amunyiga ebitundu by’ekyama.
Malaaya agamba nti okuva ku ssaawa 5 ez’ekiro, omusajja yamusuubizza ssente 20,000 ne shs 5,000 ez’okupangisa ekifo kyokka enkya ya leero, omusajja akedde kwebuzabuza nga talina wadde 100.

Omusajja agamba nti yabadde alina ssente shs 40,000 mu nsawo kyokka webukeeredde nga talina wadde 100.
Agamba nti Malaaya kirabika yamukutte mu nsawo ng’ali ne banne ekiro nga yebase ne batwala ssente zonna.
Wadde omusajja abadde ayambadde okugenda, Bamalaaya bamugyeemu essaati n’okwagala okumugyamu empale, nga malaaya alemeddeko yetaaga ssente.
Embeera eno ebadde Kataba e Kabalagala enkya ya leero era omusajja bamugyeemu engatto, omusipi ssaako n’essaati, okumukkiriza okugenda.