Kyaddaki Minisitule y’ebyenjigiriza n’ebyobulamu bakoze okunoonyereza nga mu massomero mulimu ekirwadde ekyalumbye abayizi naye nga si covid-19.

Okusinzira ku Minisita w’ebyenjigiriza ebisookerwako Dr. Joyce Moriku Kaducu, waliwo abayizi abagiddwako ‘Sample’ era okunoonyereza kulaga nti balina ekirwadde kya ‘Influenza’.

Minisita Kaducu agamba nti abayizi, baasangiddwa nga balina ssenyiga, ekifuba, omusujja, okulumwa emitwe  nga bwe kiri ku masomero ag’enjawulo, abayizi okuba nga balwadde.

Minisita Kaducu

Ng’asinzira ku Media Centre mu Kampala, asambaze ebyogerwa nti massomero mulimu ekirwadde ki Covid-19 wabula ‘Influenza’nga  yavuddeko abayizi okufuna ssenyiga, ekifuba n’emisujja, mu massomero ag’enjawulo.

Ku bayizi 198, 58 bazuuliddwa nga balina ‘Influenza’ A, 2 nga balina ‘Influenza’ B.

Nga Minisitule y’ebyenjigiriza n’ebyobulamu, Minisita Kaducu agamba nti bazzeemu okujjukiza amassomero, okuteeka mu nkola engeri zonna eziyinza okutangira abayizi okulwala.

Minisita Kaducu ajjukiza amassomero nti abayizi balina okwambala masiki ekiseera kyonna, okunaaba mu ngalo, obutakkiriza bagenyi omuli n’abazadde, okukubiriza abaana okujjumbira eby’okunywa omuli amazzi oba Juyisi, abayizi abasoma nga bava waka singa bazuulibwa nga balwadde, balina okusigala awaka okutuusa nga bafunye obujanjabi nga byonna bikolebwa, okutangira okutambuza obulwadde.

Ate Poliisi nga yegatiddwako abatuuze ku kyalo Bumwenge mu disitulikiti y’e Busia, baliko omusomesa wa Pulayimale gwe bali mu kunoonya ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Omusomesa Moses Wejuli yasangiddwa lubona ng’ali mu kwerigomba n’omwana omuto, ali mu gy’obukulu 15 ng’asoma kyamukaaga (P6).

Omusomesa ono, ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, taata w’omwana Stephen Wafula yawulidde amaloboozi agava wansi w’omuti gw’omuyembe okumpi n’awaka ng’omuntu ali mukwano, ng’ataddemu ennyimba ezitambuza omuzannyo era yagenze okutuuka nga muwala we, yegabudde, omusomesa empale ye agiwanise waggulu ku muti.

Taata Wafula agamba nti muwala we yabadde mu nnyumba, ng’omusomesa yamuyise buyisi, okumutwala wansi w’omuti.

Mu kiseera kino, omusomesa aliira ku nsiko ng’abatuuze bavuddeyo okuyambagana okumunoonya.

Wabula Milton Ojambo, akulira abasomesa ku Bukalikha primary school, omusomesa Wejuli gy’asomesa, agambye nti naye mu kiseera kino, agenda kuyambako mu kunoonya omusomesa oyo newankubadde mu kiseera kino, amazima tegamanyiddwa.

Abamu ku batuuze, basigadde bewunya omwana omuwala, okuva mu nju ya kitaawe, okumutwala wansi w’omuti, ekiraga nti wadde muto, naye ebikolwa ebyo, ayinza okuba yabitandika dda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=vTU2BGUoVnI&t=638s