Omubaka wa Monicipaali y’e Mityana Francis Zaake, addukidde mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya eky’okumuggyamu obwesigwa nga Kaminsona wa Palamenti.
Mu byafaayo bya Uganda, Zaake ye mubaka wa Palamenti asoose okumugyamu obwesigwa, ku bwa Kaminsona nga bamugoba sabiiti ewedde.
Palamenti egamba nti, okweyambisa ebigambo ebivvoola ekitiibwa kya Palamenti ssaako n’amyuka sipiika wa Palamenti Anita Among, nga yeeyambisa omukutu ogwa ‘Twitter’, emisango gyamusinga dda era y’emu ku nsonga lwaki bamugyamu obwesigwa.
Mu kulonda okwali mu Palamenti sabiiti ewedde, abamu ku bakiise ba Palamenti ku ludda oluvuganya nga bakulembeddwamu omukulembeze waabwe Mathius Mpuuga Nsamba, bakiwakanya ne bafuluma Palamenti.
Mu kulonda okwekyama, ababaka 155 bakkiriziganyiza Zaake okumugyamu obwesigwa, 4 bakiwakanya ate obululu 2 bwali bufu.
Nga tebannalonda, omubaka wa Monicipaali y’e Bugweri era ssentebe w’akakiiko w’akakiiko k’empisa, Abdu Katuntu yasomera Palamenti alipoota yaabwe ku byava mu kunoonyereza kwabwe ne bakizuulidde nti eneeyisa ya Zaake nti yatyoboola sipiika Among ne Palamenti yonna okutwaliza awamu.
Wadde Palamenti yagoba Zaake, sipiika Among, yamulagira okuggya mu Palamenti okwetonda, obutasukka wiiki emu.
Wabula Zaake, ebintu ebyongeddeyo mu kkooti enkulu ng’agamba nti byonna ebyakolebwa, tebyali mateeka.
Nga kaminsona wa Palamenti, olukiiko olukulira emirimu gya Palamenti gyonna n’okuteekeratekera Palamenti, kaminsona yenna balina okumuwa emmotoka, abakuumi, abayambi ssaako n’ebintu ebirala.
Asobodde okweyambisa munnamateeka we, omuloodi wa Kampala munna Forum for Democratic Change – FDC Ssalongo Erias Lukwago, okuwakanya eky’okumugoba.
Ate Pulezidenti w’ekibiina kye ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agamba nti Zaake ye Kaminsona waabwe.
Kyagulanyi agamba nti byonna ebyakolebwa tebyali mu mateeka era Sipiika Among alina okukomya okutwala Palamenti ng’amakaage.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=vTU2BGUoVnI