Kyaddaki Pulezidenti wa Democratic Party (DP) Norbert Mao avuddeyo ku bulamu bwa sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah.

Oulanyah myaka 56 yatwalibwa mu ggwanga erya America ng’ali mu mbeera mbi.

Wabula Mao asobodde okweyambisa omukutu ogwa ‘Twitter’ okusaba bannansi okwongera okusabira Sipiika Oulanyah.

Mao agamba nti ali mu kibuga kye Seattle mu ssaza lye Washington ne Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, amyuka sipiika wa Palamenti Anita Annet Among, Minisita w’ebyobulamu ssaako ne muganda wa sipiika Oulanyah.

Nobert Mao

Agamba nti Oulanyah mulwadde nnyo nnyon nga yetaaga essaala ya buli muntu.

Mungeri y’emu Mao asabye bannayuganda okuwa sipiika Oulanyah ekitiibwa kye ssaako ne famire ye.

Ku ‘Twitter’, Mao era agambye nti essaawa yonna amyuka sipiika Among, agenda kufulumya ekiwandiiko ku bulamu bwa Jacob Oulanyah.

Mu bigambo bye ku Twitter, Mao agambye nti, “I’m with the CJ, the D/Speaker, the Health Minister & the Speaker’s brother in Seattle where the Speaker is hospitalized. A man who is very ill deserves our prayers. Above all let’s respect his privacy and that of his family. The D/Speaker will soon issue a statement. It is well!“.