Omusajja ali mu gy’obukulu 30 asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 140 lwa kwenyigira mu kubba.
Musa Okwi, nga mutuuze ku kyalo Namasale mu disitulikiti y’e Amolatar, akulukuse amaziga nga bamusindika mu kkomera, bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Duncan Gaswaga.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga Peter Amalo, nga 11, Ogwomunaana, 2019, Okwi, yali ayambadde ekyambalo ky’amaggye ng’akutte emmundu enjigirire, ng’ali ne banne abakyaliira ku nsiko, baalumba amaka 7 okuli aga Kilimira Kaluku, Moses Oton, Lydia Okeng, Tracy Apio, James Onyanga, Victoria Adyedo ne Moses Odongo ne banyaga ebintu eby’enjawulo.
Okwi ne banne batwala ebintu omuli amassimu, laadiyo, engoye, emifaliso ssaako ne ssente enkalu wabula omu ku batuuze, Okwi, yamutegeera ne batemya ku bitongole ebikuuma ddembe.
Mu kunoonyereza, Poliisi yazuula ekyambalo ky’amaggye Okwi kye yali ayambadde ssaako n’emmundu enjigirire era mu kkooti, Okwi akkiriza emisango gyona, kwe kusaba kkooti okumusonyiwa, kuba kati ayongedde okukyuka n’okwesamba ebikolwa, eby’okwenyigira mu kutigomya abantu.
Okwi abadde ku misango musanvu (7) egy’okubbisa eryanyi era buli musango, omulamuzi Gaswaga amusibye emyaka 20 nga gye myaka 140.
Wabula emyaka 20, 20 gigenda kutambulira wamu nga newankubadde asibiddwa emyaka 140, wakumala mu kkomera emyaka 20.
Omulamuzi era agambye nti abantu nga Okwi okwenyigira mu kubba abatuuze, kyongera obunkenke mu ggwanga era y’emu ku nsonga lwaki tagwanidde kusigala mu bantu.
Abamu ku batuuze bagamba nti Okwi abadde alina okusigala mu kkomera okutuusa okufa kuba kati muntu wa bulabe nnyo mu kitundu kyabwe.
Mu kiseera kino ebitongole ebikuuma ddembe bikyanoonya abantu bonna abaali ne Okwi mu kubba abatuuze.
Wabula wadde Okwi asindikiddwa mu kkomera, ebintu byonna ebyatwalibwa, tebannaba kuzuula kintu kyonna.