Kyaddaki Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akakasizza okufa kwa sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Jacob Oulanyah mu kibuga Seattle.
Nga 5, Febwali, 2022, Oulanyah yatwalibwa mu ddwaaliro e Seattle mu ggwanga erya America oluvanyuma lwe bbanga ng’ali ku bujanjabi mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.
Ku Lunnaku Olwokusatu, amyuka sipiika wa Palamenti Anita Among yasitudde okugenda mu ggwanga erya America, okulambula ku mukama we Oulanyah.
Amyuka sipiika okugenda mu America yegatiddwako Minisita w’ebyobulamu Jane Ruth Aceng, Ssaabalamuzi Alphonse Owiny Dollo, Pulezidenti wa Democratic Party (DP) Nobert Mao, muganda wa sipiika Oulanyah n’abalala.
Nga bali mu America, amyuka sipiika Among ne baategezezza nti ddala Oulanyah tali mu mbeera nnungi nga yetaaga essaala z’Omutonzi.
Wabula enkya ya leero, Pulezidenti Museveni asobodde okweyambisa omukutu ogwa ‘Twitter’, okubikira eggwanga okufa kwa Oulanyah era agambye nti,
20th March, 2022
Countrymen and Countrywomen.
It is with a lot of sadness that I announce the death of the Rt. Hon. Jacob Oulanyah, the Speaker of Parliament.
I got information of this sad news at 10.30am, East African time from People that have been with him and the doctor that was caring for him in the intensive care unit.
He was a good Cadre. I delayed the announcement so that his children would be informed first.
May His soul rest in eternal peace.
Signed:
Yoweri Kaguta Museveni
President and Chairman of the NRM“.

Kiki ddala ekivuddeko okufa kwe!
Omu ku basawo mu ddwaaliro ekkulu e Mulago agaanye okwatuukiriza amannya ge, agambye nti sipiika Oulanyah abadde atawanyizibwa obulwadde bwa Kkansa.
Omusawo agamba nti abadde alina Kkansa w’omu lubuto nga n’okumutwala mu America, yali ali mu mbeera mbi.

Ebikwata ku Oulanyah

Oulanyah yazaalibwa nga 23, March, 1965 era afiiridde ku myaka 56.
Oulanyah yalondebwa ku bwa sipiika mu Palamenti y’e 11 nga 24, May, 2021 mu kulonda okwali mu kisaawe e Kololo, okudda mu bigere bya Rebecca Alitwala Kadaga oluvanyuma lw’okumuwangula mu kalulu.
Yaliko amyuka sipiika wa Palamenti okuva May, 2011 okutuusa May, 2021.
Oulanyah abadde mubaka wa Palamenti akiikirira abantu mu Konsituwense y’e Omoro mu disitulikiti y’e Omoro mu bitundu bya Acholi, mambuka ga Uganda.

Yasomera ku St. Joseph’s College Layibi, Dr. Obote College Boroboro ne Kololo Senior Secondary School mu S4 ne S6.
Mu 1988 yagenda ku Yunivasite e Makerere, okusoma ebikwata ku byobulimi.
Mu 1991, yagenda okweyongera okusoma eby’amateeka e Makerere era mu 1994 yafuna diguli mu by’amateeka.

Yali sipiika ku lukiiko lw’abayizi ku Yunivasite e Makerere (university students’ guild). Mu 1995 yaddayo okubangulwa mu by’amateeka ku Law Development Centre (LDC).

Oluvanyuma lw’okusoma ku LDC, yafuna omukisa okusigala ng’asomesa amateeka ku LDC. Mu kiseera ekyo, kwe kutandiika ekibiina kya bannamateeka ekya Oulanyah, Onoria & Company Advocates.
Mu 2001 yavaayo okwesimbawo ng’omubaka wa Palamenti mu bitundu bye Omoro nga mu kiseera ekyo, yali disitulikiti y’e Gulu.
Oulanyah yali musajja wa Uganda People’s Congress (UPC) era yakola nnyo okuyamba Gavumenti ya Uganda mu nteeseganya wakati wa Gavumenti n’abayekera aba Lord’s Resistance Army abaali aba Joseph Kony.

Mu July, 2006, Oulanyah kati omugenzi yava mu kibiina kya UPC, okwegatta National Resistance Movement (NRM).
Mu 2011, Oulanyah yalondebwa ng’omubaka wa Palamenti owe Omoro. Mu Palamenti y’omwenda (9) yalondebwa okumyuka sipiika wa Palamenti ku kaadi ya NRM nga 19, May, 2011.
Mu 2016, yaddamu okulondebwa ku ky’okumyuka sipiika nga 19, May, 2016 nga yafuna obululu 300 ate omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko yafuna obululu 115.
Nga 24, May, 2021, Jacob Oulanyah yalondebwa ku bwa sipiika bwa Palamenti. Mu kulonda yafuna obululu 310, Rebecca Kadaga yafuna obululu 197 ate omubaka wa Monicipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda owa Forum for Democratic Change (FDC) yafuna 15.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RusbtHcCWcY