Ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni azzeemu okuvaayo ku by’okufa kwa sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah, gwe yabise olunnaku olw’eggulo nti yafiiridde mu ggwanga era America.

Museveni alagidde bendera z’eggwanga zonna, okwewuubira wakati w’emirongooti, okutuusa olunnaku Jacob Oulanyah lw’anaziikibwa.

Nga bannayuganda bakyalinze okutegeezebwa ddi sipiika Oulanyah lw’agenda okuziikibwa, Museveni alonze Minisita w’ensonga z’obwa Pulezidenti Milly Babirye Babalanda, okulemberamu entekateeka z’okuziika.

Museveni mu ngeri y’emu asobodde okweyambisa omukutu ogwa ‘Twitter’ okusasira famire y’omugenzi Jacob Oulanyah, era asuubiza okwongera okutegeeza eggwanga ku nsonga za Jacob Oulanyah gye buggya.

Museveni agambye nti, “

Countrymen and Countrywomen

Yesterday,  at about 12.40pm, it was my sad duty to announce the untimely death of our Speaker,  the Rt. Hon. Jacob Oulanyah, MP for Omoro.

Today, I add the following:

  1. I extend my condolences, the condolences of my family and of all Ugandans to the children of Oulanyah and to his wider family. The government and the NRM will always stand with them.  I will say more about Rt. Hon. Oulanyah in the coming days. 
  2. Secondly, I have activated the National Organizing committee, under the Hon. Babalanda, to organise the official burial of the Late Speaker. They know what to do.
  3. Thirdly, I direct that the flags in Uganda fly at half- masts until the burial of the Rt. Hon. Jacob Oulanyah. This is provided for in the official burials’ procedures. 

More will be said and communicated as we go along.

Signed:

Yoweri Kaguta Museveni

Gen (Rtd),

President & Chairman of the NRM”.