Palamenti yakutuula sabiiti eno ku Lwokutaano nga 25, omwezi guno Ogwokusatu, 2022 okulonda sipiika wa Palamenti agenda okudda mu bigere by’omugenzi Jacob Oulanyah.

Oulanyah abadde omubaka owa Monicipaali y’e Omoro era amyuka ssentebe wa National Resistance Movement (NRM) mu mambuka ga Uganda era, ye sipiika wa Palamenti asoose okufiira mu ntebe, oluvanyuma lw’okutwalibwa mu ggwanga erya America nga 3, omwezi oguwedde ogwokubiri, 2022 ng’ali mu mbeera mbi.

Okusinzira ku sseemateeka wa Uganda, Palamenti tesobola kutambuza mulimu gwonna okutuusa nga balonze sipiika wa Palamenti.

Mu kulonda sipiika, Ssaabalamuzi alina okulemberamu okulonda era amangu ddala nga sipiika omuggya alayiziddwa, entekateeka ziraga nti Palamenti yakufulumya entekateeka z’okusiima emirimu, Jacob Oulanyah gyakoledde eggwanga lino.

Okusinzira ku Minisita w’amawulire n’okulungamya eggwanga lino Dr. Chris Baryomunsi, mu kiseera kino, Palamenti  tesobola kukola kyonna wadde obukiiko bwa Palamenti okutuula okutuusa nga Sipiika omuggya alondeddwa.

Dr. Baryomunsi ng’asinzira ku Media Centre mu Kampala akawungeezi ka leero  agambye nti, bakola kyonna ekisoboka okuziika sipiika Jacob Oulanyah mu kitiibwa nga bwe kirambikiddwa mu sseemateeka wa Uganda mu ngeri y’okuziika sipiika oba omumyuka we singa bafiira mu ntebe.

Webuzibidde nga bannakibiina ki NRM bonna mu Palamenti bayitiddwa, ku Lwokuna nga 24, omwezi guno Ogwokusatu, mu kisaawe e Kololo, okuteesa n’okubaganya ebirowoozo ku nsonga ya sipiika omuggya agenda okuddako.