Omusibe Allan Ssewanyana, omubaka we Makindye West, alangiridde okwesimbawo ku bwa sipiika bwa Palamenti okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah kati omugenzi, eyafiiridde mu ggwanga erya America.
Ssewanyana ne Muhammad Ssegirinya omubaka we Kawempe North, bakedde mu kkooti esookerwako e Masaka, okuddamu okuwuliriza emisango egibavunaanibwa.
Ssegirinya ne Ssewanyana bakulungudde ku limanda emyezi egisukka mukaaga (6) ku misango egiwerako omuli egy’obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju n’emirala wabula baziddwa ku limanda ku misango gy’okutta Joseph Bwanika.
Bwanika eyali omutuuze we Kisekka B mu disitulikiti y’e Lwengo, yattibwa nga 2, Ogwomunaana, 2021, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, baliko omuntu omulala ali ku misango gye gimu nabo nga tebayinza kubasindika mu kkooti enkulu, okwewozaako nga ye taliko.
Wabula munnamateeka waabwe, Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, akangudde ku ddoboozi era agamba nti byonna ebikolebwa kati, bigendereddwamu okutyoboola eddembe ly’abantu baabwe ate nga bali mu mbeera mbi betaaga okufuna obujanjabi.
Wadde omulamuzi Christine Nantege alagidde abasibe okudda mu kkooti nga 6, omwezi ogujja Ogwokuna, 2022, Ssewanyana ne Ssegirinya, basimbiddwa mu kkooti nga basinzira ‘Zoom’ okuva ku limanda mu kkomera e Kigo.
Mu kkooti, Ssewanyana agambye nti wadde ali mu kkomera, agenda kwesimbawo ku bwa sipiika bwa Palamenti, okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah nga ne Ssegirinya agamba nti mwetegefu okwesimbawo ku ky’okumyuka sipiika.
Ssewanyana alagidde bannamateeka be okutekateeka ebiwandiiko bye, okubitwayo, okuvuganya ku bwa sipiika newankubadde bagulwako ebisangosango kwe kusaba n’omulamuzi Nantege, okubayimbula basobole okwetaba mu by’okulonda sipiika oba okuyisa ekiragiro okuyimiriza okulonda sipiika okutuusa nga bayimbuddwa.
Amangu ddala munnamateeka waabwe, Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, awanjagidde abakiise ba Palamenti bonna ku ludda oluvuganya, okulemberamu okuwagira Ssewanyana wadde ali mu kkomera.
Sipiika Oulanyah yafudde ku Ssande ku makya nga 20, March, 2022 mu ggwanga erya America era Palamenti eri mu ntekateeka z’okulonda sipiika addako, okudda mu bigere bya Oulanyah ku Lwokutaano nga 25, March, 2022 mu kisaawe e Kololo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=JYv8BUYbSnQ