Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine awanjagidde abakulembeze mu ggwanga okusigala ku mulamwa, okubanja alipoota ku kyavuddeko sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah okufa, okusinga okudda mu kwogera ebitazimba nsi.

Omwezi oguwedde Ogwokubiri, 2022 , waliwo bannayuganda abekalakaasa mu ggwanga erya America nga bawakanya ekya Gavumenti okusasaanya ssente y’omuwi w’omusolo, okutwala sipiika Jacob Oulanyah, mu ddwaaliro okutaasa obulamu mu ggwanga erya America.

Mu kwekalakaasa, baawa ezimu ku nsonga omuli Jacob Oulanyah kati omugenzi, okulemwa okwenyigira mu kuzimba amawaliro agayinza okutaasa bannayuganda bonna ne balowooza nti balina kuddukira mu nsi z’ebweru.

Nga bakutte ebipande, okuwandikiddwa ensonga zaabwe omuli eky’okuwakanya okutwala Jacob Oulanyah mu America, abamu baali bayambadde obukofiira obumyufu obwa NUP.

Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, yabadde munyivu ddala ku kya bannayuganda okusiwuuka empisa ku nsonga y’okutaasa obulamu.

Ssaabalamuzi Owiny Dollo  agamba nti kyabuswavu, abantu okulwanyisa abalwadde, okubalemesa okufuna obujanjabi ssaako n’okusosola kw’ani, ateekeddwa okufuna obujanjabi.

Bwe yabadde mu maka g’omugenzi e Muyenga, Ssaabalamuzi Owiny Dollo yagambye nti kiswaza bannayuganda okwekalakaasa olwa Jacob Oulanyah okutwalibwa mu America nga gye buvuddeko Kabaka yali mu ggwanga erya Germany naye okufuna obujanjabi, okutaasa obulamu.

 

Wabula enkya ya leero, Kyagulanyi bw’abadde akedde ku Palamenti okungubagira Jacob Oulanyah n’okuteeka omukono mu kitabo ky’abakungubazi, agambye nti ebigambo ng’ebyo ebya Ssaabalamuzi Owiny Dollo , bigendereddwaamu okuggya bannayuganda ku mulamwa, okutegeera ekituufu, ekyaviiriddeko Oulanyah okufa.

Mungeri y’emu agambye nti bannayuganda abali ebweru, bagezaako okutegeeza abakulu mu Gavumenti, okulongoosa mu byobulamu, okusinga okudda mu kwenyigira mu kubba ensimbi z’eggwanga.

Mu byafaayo bya Uganda, Oulanyah ye sipiika wa Palamenti asoose okufiira mu ntebe era ye sipiika asoose okuwereza Palamenti akaseera akatono.

Nga 24, May, 2021, Jacob Oulanyah yalondebwa ku bwa sipiika bwa Palamenti y’e 11. Mu kulonda okwali mu kisaawe e Kololo, yafuna obululu 310, Rebecca Kadaga yafuna obululu 197 ate omubaka wa Monicipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda owa Forum for Democratic Change (FDC) yafuna 15.

Oulanyah yalondebwa okudda mu bigere bya Kadaga.

Vidiyo!