Kyaddaki Palamenti eronze Anita Among okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah nga sipiika wa Palamenti.
Mu kulonda okubadde mu kisaawe e Kololo nga kukubirizibwa Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, Anita Among afunye obululu 401 ate omubaka we Bugiri Asuman Basalirwa abadde akulembeddemu oludda oluvuganya, afunye obululu 66.
Kinnajjukirwa Anita bwe yali alondebwa ku ky’okumyuka sipiika mu May, 2021 mu kisaawe e Kololo, yafuna obululu 415 kyokka olunnaku olwaleero, afunye obululu 401 mu kulondebwa ku bwa sipiika.

Musajja wa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Basalirwa, oluvanyuma lw’okuwangula, agambye nti olunnaku olwaleero, okulonda kubadde kw’amazima na bwenkanya.
Mungeri y’emu asuubiza okukolagana ne sipiika Among mu kutambuza emirimu gya Palamenti.
Basalirwa era yebazizza ababaka ba Palamenti bonna okuva ku ludda oluvuganya, olw’okumulonda wadde afunye obululu 66 bwokka.
Asabye ababaka ba Palamenti bonna okukolaganira awamu mu Palamenti ku lw’obulungi bw’eggwanga.

Ate Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo alabudde sipiika Among nti alondeddwa ku lwa Palamenti yonna wabula si kibiina kyonna wadde okuweereza omuntu yenna.
Mungeri y’emu Ssaabalamuzi Owiny-Dollo atenderezza musajja wa Bobi Wine Basalirwa okulaga enjawulo mu bukulembeze, okuvaayo mu lwatu, okukkiriza ebivudde mu kulonda n’okulaga nti okulonda kubadde kwa mazima n’obwenkanya.
Agamba nti ebigambo bya Basalirwa, kabonero akalaga nti ddala musajja Honalebo agwanidde okuweebwa ekitiibwa.
Ssaabalamuzi Owiny-Dollo mungeri y’emu asabye Palamenti okweyongera okukola emirimu gyaayo nga besigama ku mateeka.

Ate sipiika Among bw’aweereddwa omukisa okwogerako eri Palamenti oluvanyuma lw’okukuba ebirayiro nga sipiika omuggya owa Palamenti ya Uganda ey’e 11, abadde musanyufu nnyo olw’okulondebwa ku bwa sipiika.
Among ye mubaka omukyala owa disitulikiti y’e Bukedea ayogeddeko eri ababaka n’abeebaza okumuyiira obululu mu bungi n’abasuubiza okukola n’amaanyi okulaba nga Uganda etuuka ku biruubirirwa byayo.
Mungeri y’emu akungubagidde abadde sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah eyafiiridde mu ggwanga erya America ku Ssande nga 20, March, 2022.

Anita Among yebazizza Palamenti yonna okumulonda ku bwa sipiika n’okwebaza abakulembeze ku ludda oluvuganya olw’okulonda Basalirwa wadde afunye obululu 66 mu kulonda okubadde okw’amazima n’obwenkanya.
Asuubiza nti mwetegefu okukolera awamu ne Palamenti yonna mu kutambuza emirimu.
Ate ku ky’okumyuka sipiika munna NRM Thomas Tayebwa afunye obululu 379 ate Okot Peter owa FDC abadde akulembeddemu oludda oluvuganya 82.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=lsvYh0wLsBw