Omuyimbi Lydia Jazmine, ayongedde okulaga nti ddala mukyala alabika bulungi wadde mukyala si mufumbo mu kiseera kino.
Wadde abamu ku bayimbi abakyala bazaala mu kiseera ky’omuggalo gwa Covid-19, Jazmine yasigala ku mulamwa gwa kuyimba nnyimba.
Y’omu ku bayimbi abakyala abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Omalawo, Binji, You and Me n’endala.
Jazmine alina akayimba akapya ‘Tonkozesa’ era abamu bagamba nti kirabika ali mu laavu n’omusajja kyokka alina okutya nti ayinza okumukozesa.

Jazmine

Wadde akayimba ka mukwano, alaga nti alina okutya nti omusajja ayinza okumukozesa era y’emu ku nsonga lwaki yakubye oluyimba.
Wabula Jazmine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okukuba dansi ku kayimba ke Tonkozesa mu ngeri y’okulaga lwaki atya okugigaba.
Mu vidiyo, akoze sigino ez’enjawulo kyokka abamu ku basajja basigadde basabbaladde nga bali mu kukuba bufaananyi.

https://www.instagram.com/p/Cbf_WSsAhe4/