Poliisi mu Kampala ekutte abantu babiri (2) abaludde nga babba Number Plate ku mmotoka z’abatuuze.
Abakwate bonna batuuze b’e Kitende nga bakwattiddwa mu kikwekweeto ekikoleddwa Poliisi y’e Kajjansi.
Okusinzira ku Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, mu kikwekweeto, Number Plates 8 zizuuliddwa.
Owoyesigyire agamba nti abakwate ssaako ne banaabwe abakyaliira ku nsiko, baludde nga bayingirira amaka g’abatuuze ne batwala Number Plates oluvanyuma ne basaba ssente.
Owoyesigyire agamba nti ekikwekweeto okuzuula bonna abakyaliira ku nsiko, kitandikiddewo.

Ate Poliisi erwanyisa abazigu b’emmundu nga yegatiddwako Poliisi mu Kampala n’emirirwano bakutte abantu bataano (5) abaludde nga benyigira mu kubba emmotoka.
Mu kikwekweeto, Poliisi ezudde emmotoka munaana (8) ezigambibwa okuba enzibe.
Ku mmotoka munaana (8), emmotoka 4 zitwaliddwa bannanyinizo, emmotoka endala 4 zitwaliddwa ku kitebe ky’ekitongole ekinoonyereza ku misango e Kibuli. Ku mmotoka 4 ezitwaliddwa e Kibuli, emmotoka 2 tekuli Namber Plate.
ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti emmotoka zigiddwa mu bitundu okuli Lugala , Kosovo, Nakulabye ne Nakawuka.