Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni ayongedde okusembeza abakyala mum Gavumenti ye, okutambuza emirimu.
Ku mulundi guno, mu Gavumenti ya Pulezidenti Museveni, abakyala kati bali ku lusegere nga bali mu bifo eby’enkizo.
Mu State House, kabiite wa Pulezidenti Museveni Janet Kataaha Museveni kati ye Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo.
Omumyuka wa Pulezidenti Museveni, Jessica Rose Epel Alupo mukyala.
Abakyala abalala kuliko Ssaabaminisita Robinah Nabbanja, amyuka Ssaabaminisita asooka Rebecca Alitwala Kadaga, sipiika wa Palamenti Anita Annet Among.
Mu kabinenti ya Pulezidenti Museveni, mulimu abakyala bangi ssaako n’ebifo ebirala eby’obukulembeze.
Abakyala abalala abali mu bukulembeze kuliko ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka ‘Uganda Human Rights Commission’ Mariam Wangadya, Akulira ekitongole ky’ebyenguudo Allen Kagina n’abalala.
Pulezidenti Museveni agamba nti abakyala okukola obulungi y’emu ku nsonga lwaki awadde bangi ebifo, okumukwasizaako okumuyambako mu kutambuza eggwanga.

Olw’abakyala okukola obulungi, Pulezidenti Museveni ayongedde okubawa omukisa okubasembeza mu State House.