Museveni avuddeyo okuyamba!
Ekitongole ky’amaggye ekya Uganda People’s Defence Forces-UPDF ekizimbi, kitandise okulongoosa ennyumba y’omugenzi Jacob Oulanyah abadde sipiika wa Palamenti y’e 11.
Oulanyah nga yafiira mu ggwanga erya America nga 20, omwezi guno Ogwokusatu, 2022 era nga bannansi bakyalinze Gavumenti okufulumya entekateeka z’okuziika, UPDF etandiise okulongoosa amakaage ku kyalo Ayom Lony mu ggoombola y’e Lalogi mu disitulikiti y’e Omoro.
Ennyumba, gye bali mu kulongoosa, kalina ey’omulembe Jacob Oulanyah gy’abadde ali mu kuzimba wabula Oulanyah wafiiridde, nga tannaba kugimaliriza.
Wabula okusinzira ku ssentebe wa disitulikiti y’e Omoro Peter Okello, ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yasobodde okusindika amaggye, okulongoosa ennyumba, omugenzi okumutekamu nga tannaba kuziikibwa.

Ennyumba Jacob Oulanyah gy’abadde ali ku kuzimba, singa erongoosebwa bulungi, eyinza okuba emu kwezo, esinga okulabika obulungi n’okuwementa obukadde bw’ensimbi obungi mu disitulikiti y’e Omoro.
Oulanyah yafiiridde ku myaka 57 mu kibuga , Seattle, Washington mu America era ye sipiika wa Palamenti esoose mu byafaayo bya Uganda, okufiira mu ntebe.
Pulezidenti Museveni akangudde ku ddoboozi.
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akangudde ku ddoboozi ku bantu abali mu kutambuza amawulire ku nfa ya Jacob Oulanyah.
Okuva ku Ssande, waliwo abantu abali mu kutambuza amawulire n’okusingira ddala ku mukutu ogwa Face Book nti Jacob Oulanyag yafudde butwa.
Abamu ku bagamba nti Oulanyah yafudde butwa kuliko ne Fred Kajjubi Lumbuye ali mu nsi z’ebweru.
Wabula Pulezidenti Museveni agamba nti bakooye abantu abali mu kutambuza amawulire ag’obulimba nga beyambisa emitimbagano.
Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri ababaka ba Palamenti mu kisaawe e Kololo oluvanyuma lw’okulonda Anita Annet Among myaka 48 ku bwa sipiika ne Thomas Bangirana Tayebwa myaka 41 ku ky’okumyuka sipiika, yagambye nti akooye abantu abali mu kweyambisa ekiseera kino okutambuza obulimba.
Museveni agamba nti Oulanyah abadde mulwadde okumala ebbanga ddene nga kyewunyisa abantu okudda mu kutambuza ebigambo nti yafudde butwa.
Amangu ddala, Pulezidenti Museveni yalagidde ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi okunoonya abantu bonna, abagamba nti Oulanyah yafudde butwa.
Agamba nti omuntu singa agamba nti Oulanyah yafudde butwa, Poliisi erina okumunoonya, okuyambako mu kunoonyereza okuzuula ekituufu ekyasse abadde sipiika Oulanyah.
Okusinzira ku minisita w’ebyamawulire Dr. Chris Baryomunsi, Oulanyah yafudde Kkansa. Agamba nti Oulanyah abadde alina Kkansa mu lubuto era amulumidde ebbanga nga kiswaza abantu okudda mu kutambuza amawulire amafu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=lsvYh0wLsBw