Omusomesa ali mu myaka 45 akiguddeko bw’asangiddwa ng’ali mu kaboozi n’omu ku bayizi.

Omusomesa ono, asomesa kw’emu ku Yunivasite mu Kampala era asangiddwa ng’ali mu loogi mu bitundu bye Kawempe.

Okukwatibwa, kidiridde mukyala we okumulondoola era watuukidde ku loogi, nga bba ali mu kusinda mukwano.

Omuwala ali mu myaka 20 era agamba nti abadde mu laavu n’omusajja okuva mu Janwali, 2022 oluvanyuma lw’abayizi okuddamu okusoma.

Omusajja asabye mukyala we obutakola lutalo nga kigenda kuwebuula ekitiibwa kye era afukamidde ne yeetondera kabiite we kwe kusaba okumusonyiwa.

Aswadde

Agamba nti wadde abadde mu bwenzi n’omu ku bayizi, talina nsonga yonna lwaki ali mu bwenzi wabula yabadde sitaani yamukemye.

Omuyizi asigadde asobeddwa!

Omuyizi wadde ali mu myaka 20, agamba nti omusomesa yamulimba nti talina mukyala era mbu anoonya mukyala wakuwasa.

Bw’abadde asaba mukyala munne okumusonyiwa, agambye nti abadde tamanyi nti omusajja alina omukyala nga yamulimba nti awaka alina abaana ba muganda we abakulu nga y’emu ku nsonga lwaki tasobola kumutwala waka mu bintu by’omukwano.

Omuwala abadde mu maziga kuba omukyala abadde amaliridde okumukuba olw’okusigula bba.

Omukyala ayogedde!

Omukyala naye abadde mu maziga nga yebuuza obwenzi bwa bba.

Agamba nti wadde bba abadde amwesiga nnyo, okumukwatira mu loogi, kabonero akalaga nti musajja bwenzi ng’ayinza okuleeta obulwadde mu maka.

Wadde naye abadde mu maziga, agamba nti agenda kukwata abaana be babiri (2) okudda mu bazadde be, okusinga okulinda omusajja okuleeta obulwadde.

Mungeri y’emu agamba nti omusajja abadde asukkiridde okwebuzabuza mu nsonga z’omu kisenge mbu mulwadde kyokka kiswaza okumukwatira mu bwenzi.

Wabula abamu ku batuuze basigadde bakyebuuza obwenzi bw’abasajja nga bagamba nti omusajja omufumbo okugenda mu loogi n’omwana omuto, kikolwa kya buswavu.

Oluvanyuma lw’omukyala okusonyiwa omuyizi, afulumye loogi wakati mu kuswala era amangu ddala afunye bodaboda okuvaawo.
Ate omusomesa alabiddwako nga naye afuluma era naye asobodde okuvuga emmotoka ye, okugenda wakati mu batuuze okusakanya nti obwenzi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=144yQiVI4Es