Omusuubuzi w’omu Kampala ategerekeseeko erya Kabanda mu Kikuubo aswadde, omukyala bw’amukwatidde mu bwenzi n’omu ku bakozi be.

Omusuubuzi Kabanda y’omu ku batunda ebintu ebyenjawulo mu Kampala era alina abakozi abasukka mu 10.

Mu kiro ekikeseza leero ku Lwokuna ku ssaawa nga 4, omukyala maama Brain akutte bba Omusuubuzi Kabanda ng’ali mu kaboozi n’omukozi we ali mu myaka 27.

Maama Brain ayogedde!

Maama Brain agamba nti abadde ne bba emyaka egisukka 10 era bavudde wala.

Mu Desemba, 2021, omusajja yamusaba okunoonya omuntu ayinza okuyambako mu bye ssente kuba omusajja atambula nnyo okugenda mu nsi z’ebweru okusuubula.

Maama Brain era agamba nti mukwano gwe yamufunira omukozi (Betty) nga buli mwezi abadde afuna omusaala gwa ssente 800,000.

Mu Febwali, 2022, agamba nti yafuna amawulire nti bba ali mu laavu ne Betty kyokka bwe yabuuza bba, byonna yabyegaana.

Maama Brain wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti olunnaku olw’eggulo Betty yamukubidde essimu nti mulwadde, tageenda kusobola kukola.

Ku ssaawa 2 ez’ekiro, bba omusuubuzi Kabanda yamutegezezza nti aliko mitingi gyagendamu ne mikwano gye.

Omukyala agamba nti yawadde bba omukisa okugenda kyokka yafunye okumwekengera, kwe kufuna mukwano gwe owa bodaboda okumulondoola.

Agamba nti omusajja yasobodde okweyambisa emmotoka ye ekika kya Toyota Harrier Kawundo okuvuga okugenda mu loogi mu bitundu bye Kawempe, Kampala.

Nga zigenda mu ssaawa 3 ez’ekiro, omukyala kwe kulaba Betty nga naye atuuka ku loogi ng’ali ku ssimu era amangu ddala yeyongedde okutya.

Nga zigenda mu ssaawa 4 ez’ekiro, Maama Brain yavuddeyo era agamba nti yasobodde okuwa omu ku bakozi ku loogi ssente emitwalo 100,000, okumulagirira ekisenge bba mwali ne Betty.

Okugenda amaaso gatuukidde ku bba ng’ali mu kaboozi ne Betty era okulwanagana kwatandikiddewo.

Wadde omukyala yatuuse ku kifo ng’ali mu maziga, bba yamutabukidde okumulondoola nga waddembe okukola buli kintu kyonna ekimuwa essanyu.

Olw’obusungu, Maama Brain yalagidde bba akakira k’enjovu era agamba nti wadde omusajja alina ssente, akooye ejjoogo ly’omusajja era yavuddewo ku loogi ng’alemeddeko okudda awaka okunoba okusinga omusajja okumuswaza okudda ku bakozi be.

Byonna nga bigenda mu maaso, Betty yabadde asobeddwa nga yeebikiridde essaati y’omusajja mu maaso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=xW55eIR98iQ