Ekiyongobero ssaako n’okulukusa amaziga, bibuutikidde ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe, mu kwaniriza omulambo gwa Jacob Oulanyah mu kitiibwa.

Jacob Oulanyah abadde sipiika wa Palamenti y’e 11, yafiiridde mu ggwanga erya America, omwezi oguwedde Ogwokusatu nga 20.

Omulambo, gutuuse ku kisaawe Entebe wakati mu byokwerinda mu nnyonyi ya Ethiopian Airline.

Omulambo gwa Jacob Oulanyah

Ku kisaawe Entebe, Baminisita bazze mu bungi okulinda omulambo, abakiise ba Palamenti, sipiika wa Palamenti Anita Among, omumyuka we Thomasi Tayebwa, Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi nga ne Gavumenti ekulembeddwamu amyuka omukulembeze w’eggwanga lino Jessica Alupo.


Omugenzi Jacob

Okuva ku nnyonyi, okutwala omulambo okukwasibwa abakungu abagulinze nga zigenda mu ssaawa 9 ez’akawungeezi, Abacholi bagwaniriza mu ngeri y’obuwangwa.

 

Omulambo gukwasiddwa abasirikale era amangu ddala gukwasiddwa aba A-Plus wabula aba famire ssaako n’abakungu, amaziga geyongedde okubayitamu ssaako n’okuba emiranga, olwa Jacob Oulanyah okuba kati nga z’embuyaga ezikunta.

Mu kiseera nga batekateeka okusimbula okuva ku kisaawe Entebbe, Jessica Alupo awanjagidde bannayuganda bonna okusigala nga bali wamu.

Bagwaniriza mu bitiibwa

Alupo agamba nti omugenzi abadde muntu wanjawulo nnyo, abadde nnamba 3 w’eggwanga lino, era y’emu ku nsonga lwaki bagenda kumuziika mu bitiibwa byonna ebimugwanidde.

Ate ku nsonga y’Abacholi okumwaniriza mu ngeri y’obuwangwa, Ssaabalamuzi Owiny-Dollo agambye nti Jacob Oulanyah abadde muntu wanjawulo nnyo era y’emu ku nsonga lwaki, babadde balina okumwaniriza mu ngeri eweesa ekitiibwa.

Okusinzira ku ntekateeka, Jacob Oulanyah wakuziikibwa sabiiti ejja ku Lwokutaano nga 8, omwezi guno Ogwokuna.

Ku Ssande ne  Mmande, omulambo gwakutwalibwa mu makaage e Muyenga okusabira omwoyo gw’omugenzi gwe ssaako n’okusiima emirimu gye, ku Lwokubiri gutwalibwe mu Palamenti gyegunasula.

Ku Lwokusatu gutwalibwe Kololo, akawungeezi gutwalibwe mu disitulikiti y’e Omoro, Jacob Oulanyah gy’agenda okuziikibwa ku Lwokutaano.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=xW55eIR98iQ&t=32s