Kyaddaki eggwanga lifunye alipoota entongole ku kyavuddeko Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa Palamenti y’e 11 okufa.

Jacob Oulanyah, yafiira mu ggwanga erya America nga 20, omwezi oguwedde Ogwokusatu, 2022  ku myaka 56 era enkya ya leero, omulambo, gugiddwa mu makaage e Muyenga, okutwalibwa mu Palamenti y’eggwanga, okusiima ebirungi, byakoleddwa eggwanga lino.

Omulambo, gutuuse ku Palamenti ku ssaawa 3 n’eddakika 20 ez’okumakya era gwaniriziddwa sipiika wa Palamenti Anita Among ssaako n’omumyuka we Thomas Tayebwa wakati mu byokwerinda, ekitiibwa n’okuteeka mu nkola obuwangwa.

Amazima ga Bwola, gaziniddwa mu kwaniriza omulambo ku Palamenti.

Sipiika Anita Among

Nga batuuse mu Palamenti ku ssaawa nga 4 ez’okumakya mu kiseenge ekiteesebwamu, Sipiika wa Palamenti Anita Among, ayogedde ku mugenzi ng’omusajja abadde ayagala eggwanga lye omuli n’okutumbula emirembe ate omuntu wa bantu.

Mungeri y’emu asabye, buli muntu yenna Jacob Oulanyah gwe yanyiiza okumusonyiwa kuba mu kiseera kino yetaaga essaala ya buli muntu.

Mu Palamenti ebadde ekubyeko nga buli muntu ali ku munne, amyuka omukulembeze w’eggwanga lino Jessica Alupo, aleese ekiteeso ekisiima emirimu egikoleddwa omugenzi.

Jessica Alupo

Mu bigambo bye Alupo agambye nti Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa Palamenti owe ggwanga lyonna, abadde akoze nnyo okutumbula entekateeka za Gavumenti ez’okuggya abantu mu bwavu n’okulakulanya eggwanga lino.

Ekiteeso, kiwagiddwa abantu abenjawulo omuli ssaabaminisira Robinah Nabbanja, eyali sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga, akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Mathius Mpuuga Nsamba n’abalala.

Nabbanja bw’abadde ayogera ku mugenzi Jacob Oulanyah, agambye nti omugenzi, abadde akulembeddemu okuzza ensa mu Palamenti y’e ggwanga, okuteesa ku nsonga ezigasa eggwanga lyonna n’okuyimusa bannayuganda.

Ate Mathius Mpuuga, agambye nti enneyisa y’omugenzi y’emu ku nsonga lwaki abadde mukwano gw’abantu n’okulaga nti ddala ye mukulembeze.

Mathius Mpuuga

Mpuuga era agambye nti, Oulanyah abadde wa Palamenti yonna awatali kwawulamu baana na byana.

Wakati mu kiyongobero nga buli muntu akyebuuza ekyasse Jacob Oulanyah, Sipiika Anita Among, awadde Minisita w’ebyobulamu Dr. Ruth Jane Aceng, omukisa okutegeeza eggwanga ekyasse omuntu w’abantu.

Minisita Aceng, agambye nti mu 2019, abasawo lwe bazuula nti Jacob Oulanyah alina Kansa mu ggwanga erya Germany, oluvanyuma lw’okufuna akazimba ku bulago.

 

Minisita Aceng mu Palamenti

Newankubadde Jacob Oulanyah abadde alina Kansa, Minisita Aceng agamba nti okufa amangu, kyavudde ku bitundu by’omubiri ebyenjawulo okwesiba omuli omutima, ekibuumba, ensingo n’amawugwe.

 

Ate abakiise ba Palamenti, batuuse ku n’okulukusa ku maziga, ku kujjukira ebirungi ebikoleddwa omugenzi.

Okusinzira ku ntekateeka z’okuziika Jacob Oulanyah, omulambo gwe gwakusula ku Palamenti y’e ggwanga, olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu gutwalibwe mu kisaawe e Kololo era ssentebe w’ekibiina ki NRM, omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ye mukungubazi omukulu.

Oulanyah wakuziikibwa wiiki eno ku Lwokutaano mu disitulikiti y’e Omoro.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=_Swzxa-ZaDI&t=155s