Omusajja akubye mukyala we emiggo lwa bwenzi e Semuto mu ggoombolola y’e Semuto mu disitulikiti y’e Nakaseke.

Omukyala ategerekeseeko erya maama Jane ali mu myaka 30 nga mukyala muzadde, alina abaana basatu (3) akwattiddwa ng’ali mu kaboozi ne neyiba we.

Omusajja ategerekeseeko erya Kajumba agamba nti yakomyewo ekiro ku ssaawa nga 3, kyokka yatuuse mu nnyumba ng’abaana bali bokka mu nnyumba nga nnyabwe taliwo.

Kajumba agamba nti musajja awagira Liverpool era mukyala we yabadde alowooza nti alina okulaba omupiira gwa Liverpool ne Benfica.

Kajumba era agamba nti, yabadde tawulira bulungi, kwe kusalawo okudda awaka ku ssaawa nga 3 ez’ekiro.

Omwana omukulu myaka 6 yabadde alaba ttiivi, kwekutegeeza kitaawe nti nnyina ayingidde mu muzigo gwa Sula, omu ku bavubuka abali mu mulimu gwa bodaboda ku kyalo.

Kajumba, okutuuka ku muzigo gwa Sula nga mukyala we maama Jane ali mu kwerigomba ku ssaawa nga 3:10 ez’ekiro ekikesezza olwa leero ku Lwokusatu.

Yakubye oluggi era okuyingira munda nga mukyala we, ali mu ssanyu ne Sula, amugabidde ebyalo.

Kajumba avudde mu mbeera!
Oluvanyuma lwa Kajumba okukwata mukyala we lubona ng’ali mu kaboozi ne Sula, omukyala yakubye enduulu okuyambibwa ate Kajumba yagudde Sula mu kifuba okumutuga.
Maama Jane yavudde mu kazigo nga yenna atuyanye ng’omuntu omulala yenna abadde mu kaboozi era yaddukidde wa neyiba, okutaasa obulamu.
Ate abatuuze webatuukidde okutaasa Sula, nga Kajumba amukubye ekikonde ku nnyindo, yenna atonnya musaayi.

Maama Jane asabye bba ekisonyiwo!
Maama Jane wakati mu maziga asabye bba ekisonyiwo kuba sitaani yamukemye.
Agamba nti Sula abadde muganzi we okuva mu Febwali, 2022 wabula okusinda omukwano, olunnaku olw’eggulo, gwe gwabadde omulundi gwe ogusoose.
Maama Jane agamba nti wadde yakoze nsobi, asabye bba Kajumba okumusonyiwa kuba si mukyala bwenzi.

Abatuuze batabukidde omukyala!
Abatuuze bavudde mu mbeera olwa maama Jane okumukwatira mu bwenzi.
Bagamba nti kyewunyisa omukyala omuzadde, okusibira abaana mu nnyumba, okudda mu kwerigomba n’omulenzi omuto.
Basabye Kajumba okwesonyiwa mukyala we kuba ayinza okuleeta ebirwadde mu maka.
Ate abatuuze abamu bagamba nti abasajja abamu okulemwa okuwa bakyala baabwe akadde mu nsonga z’omu kisenge, y’emu ku nsonga lwaki obwenzi bweyongedde mu bafumbo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=fWL1EtFm2Es