Abamu ku bakungubazi, bakulukusiza ku maziga, ng’abaana b’omugenzi Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa Palamenti, nga balaga omukwano omugenzi gw’abadde abalaga.

Mu kwogera kwabwe okusembyeyo ku kitaabwe eri abakungubazi, abakunganidde ku Ajuri Primary School mu disitulikiti y’e Omoro, abaana bagambye nti kitaawe, abadde omuntu w’abantu, omusajja w’ekisa, omwetowaze, abadde alina omukwano ku famire ye ng’afaayo ku buli nsonga yonna.

Mungeri y’emu bagambye nti kitaawe wafiiridde nga tebaliba bbanja lyona.

Ate omu ku batabani, Adyo Oulanyah, akulukusiza amaziga mu kujjukira omukwano gw’omugenzi.

Oulanyah agambye nti kitaawe okumwagaliza amazaalibwa amalungi omwezi oguwedde Ogwokusatu, 2022, bye bigambo bye ebyasembayo okwogerako n’omugenzi.

 

Omutabani olumaze okwogera, embeera atabuse, kibuyaga omungi bw’asitudde tenti, omuteekeddwa omulambo gwa Jacob Oulanyah netwalibwa ku ssaawa 6 ne ddakika 40.

Amangu ddala, aba A-Plus basitukiddemu, okudduka okutangira tenti okweyongerayo era amangu ddala bagigobye ne bagikwata ne bagizaayo ku mulambo gwa Jacob Oulanyah webadde era embeera yonna ekulungudde eddakika 20.

Embeera ebaddewo

Mu kusooka, wasoseewo ekitambiro ky’emmisa ekikulembeddwamu eyali Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Henry Luke Orombi.

Mu bigambo bye, agambye nti Jacob Oulanyah abadde musajja akoze ebintu ebyenjawulo wabula okufa kwe, kabonero akalaga nti buli muntu yenna alina okusembeza Omutonzi.

Orombi ajjukizza abakungubazi nti wadde bakola kyonna ekisoboka, engatto za Jacob Oulanyah, tewali ayinza kuziddamu.

Mungeri y’emu agambye nti ebirungi Jacob Oulanyah byakoledde eggwanga lino, kyongedde okulaga nti omuntu okuleka omukululo, tekyetagisa myaka mingi wabula okutegeera ekiyamba abantu be.

Omulundi ogusoose, taata w’omugenzi Jacob Oulanyah, Nathan Okori, ayogedde eri abakungubazi era agambye nti mutabani we, abadde aliko abantu bangi ddala baalabirira.

Okori awanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, okumaliriza ennyumba y’omugenzi gy’abadde ali mu kuzimba ssaako n’okuyambako okuyamba abaana, omugenzi baabadde akwatiridde.

Ennyumba y’omugenzi

Taata w’omugenzi, ebigambo bye bibiddwamu abadde mukwano gw’omugenzi Nobert Mao

Mungeri y’emu agambye nti tewali kubusabuusa kwonna, omwana we Jacob Oulanyah, yaweebwa obutwa, era y’emu ku nsonga lwaki afudde mangu newankubadde Gavumenti egamba nti Jacob Oulanyah abadde alina Kansa.

Taata akulukuse amaziga, ku nsonga za mutabani we okuweebwa obutwa.