Abafumbo berangidde obwenzi, omusajja bw’akutte mukyala we nga bali mu kwesa mpiki n’omusajja gw’abadde ayita mukoddomi we.
Omusajja ategerekeseeko Juma ali mu gy’obukulu 30 nga mutuuze we Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso, akutte mukyala we, ategerekeseeko erya Anita ali mu gy’obukulu 24 nga bali mu kwerigomba.
Juma nga musajja musuubuzi w’amanda mu byalo, agamba nti mukyala we, abadde tamusuubira kudda wabula ku ssaawa nga 10 ez’ekiro, olumaze okuttira amanda, akedde kudda waka.

Ku ssaawa 12 ez’oku makya ga leero, okutuuka awaka, nga mukyala we ali mu kaboozi n’omusajja gw’abadde ayita mukoddomi we, nga bakedde kusinda mukozi, okubateekerateekera ekyenkya.
Embeera eyo, evuddeko okulwanagana, omusiguze asobodde okudduka wabula omukyala atabukidde bba, okuba omunafu mu nsonga z’omu kisenge, nga kiba kizibu okumala eddakika 2 nga yekwasa obukoowu era amulangidde obwenzi.

Ate n’omusajja omutabukidde, okuleeta omusajja mu nju ye era abatuuze bebasobodde okutaasa embeera obutasajjuka.
Abamu ku batuuze abakyala, bagamba nti abasajja okusuulirira obuvunanyizibwa bwaabwe mu nsonga z’omu kisenge, y’emu ku nsonga lwaki, abamu ku bakyala, bawunzika benyigidde mu bwenzi.