Poliisi ekutte abafumbo ku misango gy’okutulugunya omwana myaka 2 mu disitulikiti y’e Luuka.

Abafumbo okuli Haluna Safu ne Fauza Nambi bakwattiddwa ku by’okusiba omwana Jamiru Mutalu n’omuguwa ne bamusibira mu nnyumba.

Abafumbo batuuze ku kyalo Kibuutu mu ggoombolola y’e Bulongo mu disitulikiti y’e Luuka.

Omwana azuuliddwa abatuuze nga yenna ali mu mbeera mbi, ng’ali ku muguwa mu kisenge yekka era abadde taweebwa bya kulya.

Abadde aliko ebiwundu era atwaliddwa mu ddwaaliro lya Kiyunga health center IV okufuna obujanjabi.

Rebecca Mirembe, akulira ensonga z’amaka n’abaana ku Poliisi y’e Luuka, agamba nti abafumbo abakwate bali ku misango gy’okulagajjalira omwana.

Ate entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Bukusu mu disitulikiti y’e Luweero, omusajja bw’asse mukyala we oluvanyuma ne yeewa obutwa olw’obutakaanya mu maka.

Omukyala attiddwa ye Aleisha Nantambi ng’abadde maama wa baana 4 ate abadde bba ye Charles Mande omutuuze we Bukusu mu ggoombolola y’e Butuntumula.

Abaana bagamba nti ekiro ku Lwokutaano, kitaawe Mande yabagobye mu nnyumba era amangu ddala yakutte embazzi, kwe kutematema mukyala we ku mutwe era yafiiriddewo.

Mande oluvanyuma yanywedde obutwa okufa wabula abatuuze webatuukidde  nga mulamu kyokka yabadde mu mbeera mbi.

Edward Kirange, ssentebe w’ekyalo Bukusu agamba nti Nantambi ne bba baludde nga balina obutakaanya era weyatuukidde ng’omulambo gw’omukyala guli mu kitaba ky’omusaayi.

Ssentebe Kirange agamba nti omusajja abadde alumiriza mukyala we Nantambi nti alina omusajja omulala ku kyalo era mbu aludde ng’ali mu laavu n’omusajja omulala.

Mungeri y’emu Ssentebe Kirange agamba nti mu lukiiko, omusajja yalemwa okuleeta obujjulizi nti omukyala alina omusajja omulala era ne bakaanya okwesonyiwa ensonga ezo.

Mande awonye emiggo gy’abatuuze

Isaac Wampamba, Kansala we Butuntumula agamba nti abatuuze babadde balemeddeko okutta omusajja olw’okutta mukyala we wabula bakaanyiza okwewala okutwalira amateeka mu ngalo.

Wampamba era agamba nti wadde omukyala yattiddwa mu bukambwe, Poliisi yaluddewo okutuuka, ekyayongedde okunyiza abatuuze.

Isah Semwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku ttemu eryo.

Omusajja Mande yatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Luweero okutaasa obulamu wadde ali ku misango gya butemu.

Kinnajjukirwa nti mu March, 30, 2022, abantu bana (4) bazuulibwa nga battiddwa ku kyalo Bufumbanswa mu disitulikiti y’e Luweero nga kigambibwa mwalimu engeri y’okweraguza.

Emirambo 2 gyazuulibwa mu luggya ate omulambo gumu (2) nga gusuuliddwa mu lusuku lw’ebitooke.

Ebitundu by’omubiri ebyenjawulo byali bisaliddwako omuli obubina, ebitundu by’ekyama, amabbeere, emikono n’ebitundu ebirala.

Mu kunoonyereza, Poliisi yazuula nti abantu abattibwa kwaliko Shamsa Agujji myaka 52, Manisul Ojuku myaka 25, Manisul Ajeke myaka 13 ne Hamza Shadidu myaka 2.

Ku by’okutta abantu 4, Poliisi yakwata abantu 4 okuyambako mu kunoonyereza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=r57nEMQO4EQ