Poliisi etandiise okunoonyereza ku bantu abali mu kutambuza amawulire nti Jacob Oulanyah, eyali sipiika wa Palamenti y’e 11 yafudde butwa.

Alipoota y’abasawo egamba nti wadde Jacob Oulanyah abadde alina Kansa, okufa amangu nga 20, omwezi oguwedde Ogwokusatu, kyavudde ku mutima, ekibumba, amawungwe ssaako n’ensigo, okufa nga tebikyakola.

Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abantu bonna abali mu kutambuza amawulire nti Oulanyah yafudde butwa, babetaaga okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru enkya ya leero, anokoddeyo abantu abetaagibwa omuli taata w’omugenzi Nathan Okori, eyazzeemu okuvaayo ku ssaawa y’okuziika mutabani we, okuddamu okutegeeza eggwanga, nti wadde Jacob Oulanyah kati z’embuyaga ezikunta, yafudde butwa.

Abalala Poliisi beyetaaga kuliko Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), amyuka ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi, Minisita w’eby’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi, omubaka we Kilak South, Gilbert Olanya n’abakulembeze abalala.

Enanga agamba nti balina okutegeeza Poliisi ku mawulire agatambuzibwa ku bya Jacob Oulanyah okufa obutwa.

 

Poliisi yafuna ekiragiro okuva eri omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yali ayogerako eri ababaka ba Palamenti oluvanyuma lw’okulonda Anita Among ku bwa sipiika bwa Palamenti okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah ne Thomas Tayebwa ku ky’okumyuka sipiika mu kisaawe e Kololo.

Ate Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Dr. Douglas Singiza alangidde abantu bonna abeeyimirira omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija bakwatibwe, olw’okuzimuula ekiragiro kya kkooti ne balemwa okweyanjula mu kkooti enkya ya leero.

Ekiragiro ky’omulamuzi Dr Singiza kitabudde bannamateeka baabwe okuli Ivan Bwowe ne Samuel Wanda era bakiwakanyiza.

Bwowe ne Wanda  basuubuzi, okutuula n’abantu baabwe omulamuzi, okuteesa okusalawo ekiddako.

Kakwenza ali ku misango gy’okuvvoolo n’okuvuma ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ne mutabani we era omuddumizi w’eggye ery’oku ttaka Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba ng’ayita ku mukutu ogwa Twitter.

Wabula bwe yali ayimbulwa, nga 5, Janwali, 2022, yaleeta abantu 4 okuli munnamateeka Julius Galisonga, Ssaabawandiisi w’ekibiina ki National Unity Platform – NUP David Lewis  Rubongoya, omusomesa ku Kololo Secondary School Annah Ashaba n’omwekalaasi ku nsonga ez’enjawulo Job Kiija ku ssente obukadde 10 buli omu ezitali za buliwo.

Omulamuzi okulagira okukwattibwa, kidiridde Kakwenza okudduka mu ggwanga nga kigambibwa mu kiseera kino awangalira mu ggwanga erya Germany newankubadde bannamateeka be bagamba nti ali mu ggwanga.

Wadde omulamuzi alagidde bakwatibwe, agamba nti singa mu lutuula oluddako nga 9, May, 2022 basobola okuleeta mu kkooti ssente obukadde 10 buli omu, baddamu kulya butaala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=3z6xXQcbVps