Abakyala mu Kampala abafumbo abegatira mu kibiina kyabwe ekya ‘Associations of Wives’, bakedde ku nkulungo z’enguudo mu Kampala nga bakutte ebipande okwemulugunya ku nsonga ez’enjawulo.

Ku nguudo okuli Garden City, Mulago ne Usafi, abakyala bazze nga bangi bali mu mpale empavu ne T-Shirt enzirugavu, nga bemulugunya olwa basajja okudda awaka nga bakooye olwa ba ‘Slay queen’ okubakooya, ekitabangudde amaka gaabwe.

Mungeri y’emu bagamba nti abasajja balina okwongera ku ssente za kameeza kuba tezikyamala ssaako n’abo okutwalibwako mu kibuga Dubai okulya ku bulamu.

Abakyala bano abafumbo era bagamba nti abasajja, basukkiridde okwesamba emmere y’awaka nga bagenda okudda nga bakkufu  nga n’ensonga z’omu kisenge, wadde bakola obukolomooni okubasanyuka, bangi ku basajja tebakyafaayo nga balowooza ku bawala ab’ebbali (Side Chic) .

Mu kwekalakaasa abasinga bali wakati w’emyaka 20 – 40, bagamba nti bavuddeyo okulaga abasajja nti bakooye ejjoogo lyabwe n’okulaga ba ‘Slay Queen’ nti bakooye okusigula abasajja baabwe.

Wadde bavuddeyo okulaga ensonga zaabwe, Poliisi ekutteko abasukka 30 era batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS.

 

VIDIYO!