Kyaddaki omuwala ali myaka 27 eyakwattiddwa mu ggwanga erya Kenya ku misango gy’okubba Ipad y’omusajja yewozezaako, ekirese abasirikale nga bali mu nseko.
Omusajja Khan nga mugwira mu ggwanga erya Kenya, yaddukira ku Poliisi y’e Kilimani mu kibuga Nairobi akawungeezi k’olunnaku olwe Ssande olw’omuwala okubba Ipad ye.
Khan agamba nti Ipad ye eri mu ssente 92,000 eze Kenya nga yatwaliddwa omuwala oluvanyuma lw’okusinda omukwano, mu kiro ekyakeesa ku Ssande.
Mu kwekebejja akazigo k’omuwala, Ipad yazuuliddwa era ku Poliisi agamba nti Khan yagimuwadde olwe ssanyu lye yabaddemu amangu ddala nga yakamala okusinda omukwano.
Mungeri y’emu agambye nti Khan yamuwadde Ipad mu kifo kya ssente zeyabadde amusuubiza oluvanyuma lw’okusinda omukwano nga yabadde talina ssente mu nsawo.
Omuwala era agambye nti nga bukya ku Ssande, Khan yabadde alemeddeko okusaba enyongeza era bwatyo yazzeemu okumugabira ebyalo, nasigala ng’atende obukodyo by’abakyala b’e Kenya.
Wabula ku Poliisi, omukyala aguddewo omusango nti Khan yavudde mu mbeera y’okusinda omukwano nga bwe kirina okuba mu ngeri y’okumusobyako.
Omusajja Khan n’omukyala omutuunzi w’akaboozi bonna bali mikono gya Poliisi mu kiseera kino era Poliisi egamba nti essaawa yonna, bagenda kubatwala mu kkooti.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=uOGfC1GAyQY&t=1s