Poliisi ekutte Pasita James Muwanguzi ku misango gy’okusobya ku baana bataano (5) mu kazigo mwabadde asula.
Pasita Muwanguzi myaka 24 owa Life in God International Ministries e Budondo ku Arab mu disitulikiti y’e Jinja, yakwattiddwa ku by’okusobya ku baana wakati w’emyaka 10 ne 16.
James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kira – Jinja, agamba nti Pasita Muwanguzi yalina ekkanisa mwe yali wabula oluvanyuma lw’obutakaanya, yasalawo okutandikawo ekkanisa ye.
Mubi agamba nti Muwanguzi abadde apangisa etundubaali mu kiseera ky’okusaba ssente shs 4,000 buli mulundi ate omuzigo abadde agibwako ssente shs 20,000 buli mwezi, mwabadde asula n’abaana ssaako n’okubakozesa.
Pasita Muwanguzi nga yazaalibwa mu disitulikiti y’e Namisindwa, okunoonyereza kulaga nti abaana yabaggya mu bitundu eby’enjawulo omuli Budaka ne ggombolola y’e Budondo.
Wakati mu kunoonyereza, Mubi agamba nti abaana bonna basindikiddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa, okufuna engeri y’okuyamba abaana.
Mungeri y’emu James Mubi alabudde abazadde abasukkiridde obulagajjavu ku nsonga z’abaana baabwe nti ye ssaawa, Poliisi okubanoonya bonna bavunaanibwe.
Agamba, kiswaza abazadde okwesiga abantu n’abaana baabwe, ekiviriddeko ebikolobero okweyongera mu baana.
Ate kkooti enkulu e Mukono eriko abantu babiri (2) nga batuuze mu disitulikiti y’e Kayunga, abasindikiddwa ku kkomera e Luzira okumala emyaka 50 lwa kwenyigira mu kutta bantu.
Mu maaso g’omulamuzi Margret Mutonyi, Francis Zarika ne James Kirimunda nga bonna bavubi, basingisiddwa emisango gy’okutta Robert Kibi ne Bete Mugerima olw’obutakaanya n’empalana wakati mu kutambuza emirimu ku Lake Kyoga.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu George Bigira, mu 2015 ku kyalo Kambatani mu ggoombolola y’e Galilaya mun disitulikiti y’e Kayunga, abavunaaniddwa baakuba Zarika ne Kirimunda ne battibwa emirambo gyabwe ne bagisuula mu nnyanja.
Wadde basibiddwa emyaka 50 buli omu, Richard Ariko, asibiddwa emyaka 7 olw’okusirikira amawulire ku by’okutta abantu abo.
Omulamuzi Mutonyi abagiddeko emyaka 7 gye bakulungudde ku limanda ne basigaza emyaka 43, ate Ariko asemberedde okumalako emyaka 7, nga ku limanda amazeeyo emyaka egigenda mu 7.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-YoUCS89k8Y