Poliisi ekutte abantu 6, abaludde nga basuula emisanvu mu kkubo okunyaga abatuuze ku luguudo lwa Kampala – Mubende ssaako n’okumenya amayumba.

Abakwate, baludde nga benyigira mu kubba okuva mu December, 2021.

Okunoonyereza kulaga nti nga 23, Janwali, 2022, ku kyalo Bamunanika ku luguudo lwe Mubende – Kampala, abakwate befuula abasirikale bannamaggye nga bali mu kyambalo ky’amaggye, nga bakutte emmundu enjigirire, nga bakutte ejjambiya, ennyondo n’akapande ka Poliisi akayimiriza emmotoka, bateeka emisanvu mu kkubo ne banyaga abatuuze omuli ne mmotoka ekika kya Fuso namba UBG 709G, eyaliko ensawo za kasooli 80, ne batwala amassimu ssaako ne ssente enkalu eziri mu 1,200,000.

Ddereeva Lubega Richard ne banne 3, baabakuba emiggo ssaako n’okubasiba emiguwa.

Abakwate kuliko

– Ssemuwemba Ibrahim ali myaka 40 nga mutuuze we Busega mu Divizoni y’e Rubaga mu Kampala

– Lwassampijja Ignatius myaka 29 nga mutuuze we Gombe mu Monicipaali y’e Mityana

– Hakim David myaka 24, ssentebe ku kyalo Mirembe kaweesa mu disituliki y’e Kasanda

– Ddamulira Emmanuel myaka 30 nga mutuuze we Wabigalo mu Monicipaali y’e Mityana

– Ssegayi Kimbowa Emmanuel myaka 25 nga makanika ku kyalo Mizigo mu disitulikiti y’e Mityana

– Kayiira Ronald myaka 30 nga mutuuze ku kyalo Mirembe kaweesa mu disitulikiti y’e Kasanda.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitebe kya poliisi, ekinooyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID, Charles Twine, abakwate baludde nga benyigira mu kubba abatuuze mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era okunoonyereza kukyagenda maaso.

Ate abakulembeze nga begatiddwako abatuuze ku kyalo Nsambwe mu disitulikiti y’e Mukono, bagamba nti bassentebe obutawandiisa batuuze bazze ku kyalo ssaako ne Balandiloodi obutafaayo kwekeneenya Bapangisa baabwe, y’emu ku nsonga lwaki ebikolwa, omuli ettemu byeyongedde.

Mungeri y’emu banokoddeyo n’ensonga y’okunywa enjaga, obutaagala kukola, kivuddeko bangi okwenyigira mu kutwalira amateeka mu ngalo.

Abatuuze okutabuka, kidiridde omusajja atamanyikiddwa ku kitundu ategerekeseeko erya Isma, okwenyigira mu kutta abadde muganzi we Rehamah Tebandeke myaka 27 abadde omutuuze mu kitundu ekyo.

Omulambo gwa Tebandeke gwasangiddwa mu nnyumba ku buliri olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu ku makya.

Yo Poliisi egumizza abatuuze ku nsonga y’okunoonya omusajja okutuusa ng’akwattiddwa.

Addumira Poliisi mu disituliki y’e Mukono Annabella Nyinamahoro, agamba nti ekiriwo kiraga nti omukyala okuttibwa, kyavudde ku butakaanya wakati we ne muganzi we.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=27yHgx1J7tc