Poliisi ekutte Direkita Mohammed Kivumbi, nannyini kutandiika ssomero lya Vision Nursery and Primary School mu katawuni k’e Busula mu disitulikiti y’e Luweero ku misango gy’okusobya ku muyizi we.
Kigambibwa nga 1, omwezi guno Ogwokuna, 2022, ssaawa nga 4 ez’ekiro, Kivumbi, yalagira omu ku bayizi be ali mu gy’obukulu 11, okumutwalira ebitabo mu offiisi ye, oluvanyuma lw’okusoma ekiro.
Omwana wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti amangu ddala ng’atuuse mu offiisi, Kivumbi yaggyako amataala era bwatyo yamusika, namusobyako, kwe kumusuubiza okumusindikira ekisiraani singa ategezaako omuntu yenna, era ekisiraani kyakumulemesa okuyita ebigezo bye ky’omusanvu (P7).
Mungeri y’emu omwana agamba nti Kivumbi okuva olwo, abadde amuyita mu offiisi buli kiro, okuddamu okumusobyako.
Wabula nnyina naye mu kulukusa amaziga, awanjagidde buli mukulembeze ayinza okumuddukirira nga yetaaga obwenkanya ku nsonga y’omwana we.
Maama agamba nti Kivumbi, abadde akolagana ne Metulooni w’essomero, okusobya ku mwana we.
Wabula Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, Luweero mweri, agambye nti Kivumbi akwatiddwa era asindikiddwa ku kitebe kya Poliisi e Luweero.
Mungeri y’emu agambye nti aguddwako omusango gw’okusobya ku mwana omuto ng’essaawa yonna, bakumutwala mu kkooti.
Kinajjukirwa nti mu Desemba, 2021, omusomesa ku Child Care Primary School mu Tawuni Kanso y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luweero, yakwatibwa ku by’okusobya ku mwana myaka 9.
Ate alipoota ya Poliisi 2020 eraga nti abaana 174 basobezebwako mu disitulikiti y’e Luweero yokka.
Ate Kkooti enkulu e Mukono, eriko omusajja gwesindise mu kkomera okumala emyaka 50 lwa kutta abantu.
Balikuddembe Kisitu nga mutuuze mu disitulikiti y’e Kayunga, yasindikiddwa mu kkomera era kabuze kata okuyunguka amaziga.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu George Bigiirwa, Balikuddembe yatta abantu basatu (3) okuli Zam Kyomugisha eyali muganzi we, Omita Kizito eyawasa eyali muganzi we n’omwana Magala Yesse myaka 8.
Balikuddembe, yabatta nga 30, Ogwokubiri, 2014 nga ennyumba yabwe, yagimansira amafuta ga petulooli nagikumako omuliro.
Omulamuzi Margret Mutonyi mu kuwa ensala ye, agambye nti Balikuddembe okutta abantu, tagwanidde kusigala mu bantu, kwe kumusiba emyaka 50 okuba eky’okuyiga eri abantu abalala, abasubira okwenyigira mu kikolwa kye kimu.