Amawulire agali mu kutambula galaga nti omuyimbi Robyn Rihanna amanyikiddwa nga Rihanna myaka 34 ali mu kwejjusa era mbu ali maziga.
Amawulire galaga nti Rihanna yakutte bba omuyimbi Rakim Athelaston Mayers amanyikiddwa nga ASAP Rocky myaka 33 ng’ali mu bwenzi.
Okusinzira ku lupapula lw’amawulire olumanyiddwa nga ‘Kurro’, ASAP Rocky mbu yabadde n’omuwala Amina Muaddi omwolesi w’emisono.

Olupapula lugamba nti Rihanna yayawukanye ne ASAP Rocky lwa bwenzi wadde mu kiseera kino omukyala ali lubuto.
Mu February 2022, Rihanna yategeeza ensi nti ali lubuto lwa ASAP Rocky era agenda kuzaala omwana we asoose.
Okusinzira ku lupapula lwa Kurro, Rihanna ali mu kwejjusa lwaki yakkiriza omulenzi ASAP Rocky mu bulamu bwe.