Waliwo ssemaka aswadde mu maaso ga mukyala we, bw’akwattiddwa ng’ali mu kaboozi n’omukozi w’awaka.
Okusinzira ku Ifeoluwa, ssemaka wadde amannya gasirikiddwa, mukyala we yagenze mu ddwaaliro olunnaku olw’eggulo okuzaala kyokka enkya ya leero, omusajja akedde mu kusinda mukwano n’omukozi.
Ifeoluwa agamba nti neyiba era abadde atumiddwa okukima ebintu by’omukyala okubitwala mu ddwaaliro wabula asobeddwa okusanga omusajja ng’ali n’omukozi.
Mu lungereza, agamba nti, “Jesus! Just walked in on my neighbor’s husband having sex with their maid while his wife is in the hospital. This woman just gave birth yesterday and I literally came to Pick stuff to take to her in the Hospital. I’m broken, I don’t even know how to handle this“.
Wadde Ifeoluwa agaanye okwatuukiriza ekitundu, kigambibwa biri mu ggwanga erya Nigeria.
Wabula abamu ku bantu ku mitimbagano bagambye nti, omukyala okuba mu ddwaaliro nga yagenze kuzaala, omusajja okudda mu bwenzi, kabonero akalaga nti omusajja bwenzi.
Ate abalala bagambye nti omusajja okuba mu bwenzi mu kiseera ng’omukyala ali ddwaaliro, kiraga nti omusajja n’omukozi baludde nga bali mu laavu mu nkukutu.
Ssemaka ali mu myaka 45 ate omukozi w’awaka ali mu myaka 20 era kigambibwa omukyala w’awaka wadde yabadde mu ddwaaliro, yafunye amawulire nti bba abadde mu kikolwa n’omukozi era amangu ddala, yatabukidde bba mu lwatu.
Mu kwewozaako, Ssemaka agamba nti byonna bya bulimba era bigendereddwamu kutabangula maka gaabwe.
Ssemaka n’omukyala balina abaana babiri (2) era yabadde agenze mu ddwaaliro kuzaala mwana wa kusatu (3).
Ebirala ebifa mu ggwanga Uganda – https://www.youtube.com/watch?v=9XL4n5R32N4