Poliisi y’ebidduka etandiise okunoonyereza ekyavuddeko akabenje, akalese abantu 4 nga z’embuyaga ezikunta ku luguudo lwe Kampala – Masaka.

Akabenje kano, kabaddewo nga zigenda mu ssaawa 3 ez’ekiro, ku kyalo Wamatovu e Katende era bangi ku batuuze baasigadde mu mbeera ya kiyongobero.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi y’ebidduka Faridah Nampiima, akabenje kano kabaddemu emmotoka 2 ne Pikipiki emu (1) era abantu 4 bafiiriddewo okuli abasajja  (3) ate 3 baddusiddwa mu Kiriniki eziri okumpi nga bali mu mbeera mbi.

Nampiima agamba nti akabenje kabaddemu emmotoka ekika kya Fuso Box Body namba UBB 288W eyabadde etwala sementi, Premio UAV 137E ne Pikipiki Bajaj Boxer UDG 002S.

Agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekyavuddeko akabenje naye emmotoka ya premio ne Pikipiki bitwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Mpigi ate Fuso box body, yabaddeko Sementi era Poliisi egamba nti balina okumugyako, emmotoka okutwalibwa ku Poliisi.

Nampiima awanjagidde baddereeva abali okudda mu Kampala okuva mu kulya Pasika, okwewala etamiiro wamu n’okuvugisa ekimama kuba kivuddeko abantu okufuna obubenje.