Eyaliko omukulembeze w’eggwanga erya Kenya Mwai Kibaki afudde.
Kibaki yali Pulezidenti we Kenya owokusatu bukya Kenya efuna bwetwaze mu 1963.
Kibaki, yazaalibwa nga 15, November, 1931 era afiiridde ku myaka 90.
Yakulembera eggwanga erya Kenya okuva nga 30, December, 2002 okutuusa nga 9, April, 2013.
Oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga eryo Uhuru Kenyatta okubikira bannansi, ekiyongobero, kisanikidde eggwanga lyonna.
Kenyatta alagidde bendera z’eggwanga lyonna okwewuubira wakati w’emirongooti okutuusa nga Kibaki aziikiddwa.
Mungeri y’emu Kenyatta ayogedde ku mugenzi ng’omusajja abadde ayagala eggwanga lye, akoze nnyo mu kutendeka abakulembeze era eggwanga ligenda kumusubwa nnyo.